Kati naawe otandise okufuna ssente naye nalabye nga ssente zikufudde kirala.
Ebbanga lye namaze awaka nga mpuliriza emboozi ng’oyogera n’omwami waffe nalabye nga ddala ssente ekukyusizza nnyo.
Mwana wange okufuna ssente tekitegeeza nti ggwe ofuuse omwami mu maka. Omwami asigala mwami. Kubanga olina ssente okumusinga tekitegeeza nti ggwe asalawo mu maka.
Jjukira nti mwali muteesa bulungi era nga musalawo mwembi. Naye kati kirabika oyagala kusalawo wekka era n’alabira ddala nga ssente zikuwaga.
Embeera eyo ngiraba mu bakyala bangi balina ssente naye tobeeranga abakyala abo. Kubanga abakyala bangi obufumbo bufudde kubanga balowooza nti ssente zifuga obufumbo.
Omusajja yenna oba mugagga oba mwavu asigala ng’ayagala ekitiibwa kye nga
omusajja mu maka.
Omukyala omugezi bw’ofuna ssente okusinga omusajja, omusajja ono okusigala nga musajja olina kusigala ng’okola bye wali okola nga tonnafuna ssente ezo.
Obuvunaanyizibwa nga omukyala olina okubukola, okulabirira amaka nga mayonjo, okuyonja omwami wo, okumufumbira oba okumutegekera ebyokulya, okumussaamu ekitiibwa.
N’ekirala tomuggyaako buvunaanyizibwa bwe nga omusajja.
Abakyala abamu bw’alaba ng’omusajja talina ssente olwo ng’atandika okukola buli kintu omusajja ky’alina okukola mu maka, ekitali kituufu.
Kiba kirungi n’obuuza munno bulungi kubanga tomanya ayinza okuba ng’alinawo ssente z’asobola okukuwa nga bwe yakolanga bedda.
Omusajja bw’alaba ng’ofuuse nga musajja munne, mu maka ge atandika okutya era atandika okulowooza engeri gy’anaafuna omukyala amutegeera era anaamuyisa ng’omwami mu maka ge.
Kati wamugambye nti ennyumba gye mutegeka okuzimba nti osobola okugizimba wekka, nti ye ssente z’alina ntono nnyo.
Simanyi oba walaba kye yakola n’okitegeera. Yakutunuulira era talina kye yakuddamu.
Manya nti omwami waffe y’akutuusizza awo. Wali otuula waka n’akutandikira edduuka n’akusomesa osobole okutambuza edduuka ate n’akuleka okukozesa ssente zo nga bw’oyagala.
Kati kubanga omusaala gwe mutono okusinga ssente z’ofuna tolina kuduula.
Fuga olulimi lwo beera mufumbo era kkakkana ekifo kyo basobola okukitwala essaawa yonna kubanga amalala ofunye mangi.