Ebbaluwa ya Ssenga: Lwaki tokyafumbira musajja mmere?

OMWAMI waffe agamba aludde nga talya ku mmere. Nti tokyafumba, byonna wabirekera mukozi era omwami yeebuuza ky’aliko kuba oluusi emmere evunda ne musuula nsuule.

Ebbaluwa ya Ssenga: Lwaki tokyafumbira musajja mmere?
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMWAMI waffe agamba aludde nga talya ku mmere. Nti tokyafumba, byonna wabirekera mukozi era omwami yeebuuza ky’aliko kuba oluusi emmere evunda ne musuula nsuule.

Mwana wange, okwo si kwe kwonoona? Mbu n’eby’okugula emmere mu katale wabivaako, otuma wa boda boda n’akuguliza by’oyagala.

N’otomanya nti ggwe bwe weetuukira mu katale, omanya bw’otetenkanya n’ogula ebintu ebinaamalawo akaseera ne musobola okukkereza ate okuba ne ssente ziba zino, osobola n’okukekkereza. Ate n’ebikwata ku ffumbiro wabirekera mukozi.

Abasajja abasinga baagala okulya ku mmere ng’omukyala ow’awaka y’agifumbye.

Nkimanyi olina okukola naye era olina okuyitako mu ffumbiro n’olaba oba omukozi by’afumbye birungi era omwami wo oba abaana bo bye balina okulya. Era ggwe alina okubuulira omukozi bye mugenda okulya naye era byonna wabimulekera.

Ka nkubuulire ebinaddirira. Omwami ayinza okutandika obutagula mmere kuba omusajja yenna agula emmere ng’ayagala abantu be balye bulungi. Okulya obulungi kitegeeza omukyala alina okuyiiya, emmere n’efumbibwa bulungi n’evaamu nga mpoomu.

Bw’aba talya mmere mpoomu, ajja kuginoonya gy’atambulira. Ndowooza ennaku zino olaba abasajja bangi nga balya ekyenkya mu kibuga oba ku mulimu.

Abamu bava awaka ng’ekyenkya tekiriiwo oba nga tekiwooma. Ate era abasinga ennaku zino n’ekyeggulo bakirya mu kibuga.

Anti atuuka awaka ng’emmere yaakulya ku ssaawa ttaano ez’ekiro kyokka nga buli kimu awaka yakiguze.

Okudda awaka naawe n’obuuza lwaki ekyeggulo tebakijjula kitegeeza naawe ofuuse musajja mu maka. Omukyala omutuufu bw’otuuka awaka olina okwenyigira mu by’okufumba. Oba tosobola kufumba mmere waakiri fumba enva.

Nkimanyi okoowa naye n’omwami waffe oba asobola okutugulira emmere, n’amanya nti mulina okulya n’akuwa ssente ogule emmere naffe tulina okufaayo okulaba nga tumufumbira ku mmere. Ku wiikendi ng’osiibye awaka lwaki tofumba mmere?

Lwaki tomufumbira kyankya? Ebyo abasajja bya baagala. Mwana wange kyusaamu kuba oli mufumbi nmulungi, emmere gy’ofumba y’ewoomera omusajja.