Weegendereze emikwano gy'olina tegikwonoonera obufumbo ; Ebbaluwa ya Ssenga ;

Mwana wange olina okwetegereza emikwano gy’olina nti ddala gikwagaliza

Weegendereze emikwano gy'olina tegikwonoonera obufumbo ; Ebbaluwa ya Ssenga ;
By Ssenga wa Bukedde
Journalists @New Vision
#Ssenga #Maka #Bufumbo #Kubuulirira

Ebbaluwa ya Ssenga ;

Mwana wange olina okwetegereza emikwano gy’olina nti ddala gikwagaliza. Wagamba oyagala kunoba kuba omwami waffe takuwa za kameeza kyokka weetegereze banno abagamba nti bafuna ez’akameeza, ndaba obasinga.

Baakuzimbira ennyumba topangisa, banno beesomeseza abaana baabwe era wangamba nti oluusi mukwano gwo Rita akusaba eza ffiizi z’omwana we.

Ekirala ky’otamanyi nti obufumbo tebufaanagana. Buli mukyala y’amanyi bw’atambuza bw’alimu. Kati mikwano gyo bakugamba onobe kuba omwami wo akomawo ku ssaawa 5:00 ez’ekiro kyokka ng’okimanyi nti emirimu gye gya kiro ate ng’emirimu egyo mw’aggya ssente ezitubeezaawo.

 Bo bakugamba nti akulimbaera ne bakugamba ogende ku mulimu okakase. Omwami waffe akola mu ‘super market’ ate era ye mukulu alaba abalala bye bakola.

Baggalawo ku ssaawa ssatu ez’ekiro era baba balina n’ebitabo bye babala nga bwe babimaliriza n’adda awaka.

 Kati mwana wange eky’okugenda okulaba by’akola ekiro oleke abaana awaka si kya magezi kuba munno y’akubuulira ky’aba akola.

Ekirala mwana wange, emikwano egimu bwe balaba ng’obasinga nga bakola ekisoboka okulaba ng’okka   wansi obafaanane oba okkire ddala obeere bubi. 

Weebuuze oyo afuna ez’akameeza, lwaki ffiizi nazo tebazimuwa. Kitegeeza tali bulungi naye ayagala omufaanane kuba kimuluma ggwe okubeera obulungi.

Ekirala, okuggyako nga mukwano gwo omwesiga nnyo naye tokigeza n’omufuula mukwano gwa mwami wo. Ffe bakyala tulina ebintu bye twogera ku baami baffe ate oluusi mikwano gyaffe ne babikyusa ne bifuuka bibi ne babibuulira abaami baffe. 

N’ekirala, omukyala omutuufu mu maka waliyo ebintu bye yeesigaliza n’otobigamba mikwano gyo. Olina okubeera n’ebyama bya maka mu mutima gwo oba n’obuulirako nga nze ssenga wo.

Mikwanogyo mwenkana mu myaka era tegirina bukugu mu bufumbo. Ffe abakyala abakulu tumanyi bingi era ggwe by’olowooza nti binene nnyo, ffe bakyala abakulu tukugamba nti bitono.

Mwana wange yiga nti ebizibu ebimu si bizibu.Naawe toli mutuukirivu, olina by’okola ebitasanyusa munno naye n’asirika oba n’akwesonyiwa. Kale weegendereze emikwano.