OMUYIMBI Rickman amanyi olugero olugamba nti, ‘Atega ogumu, taliira’.
Bwe yayimba ‘Ebbango baaliwanika’, abamu baalowooza nti, oba y’omu ku bayimbi abaakola edda, wabula kati ku mirimu gy’akola agasseeko okukola obwa bbulooka bw’ettaka, amayumba n’emmotoka.
Abamu bagamba nti, engeri gy’aludde okukuba ‘hiiti’ n’okwawukana kwe ne Sheilah Gashumba eyali muninkini we, ebintu byamutabukako era kati akola buli ekiriwo.
Ku mikutu gye egy’omutimbagano, asinga kussaako ennyumba, poloti n’emmotoka ezitundibwa era abamu ne bagamba nti, kati yafuuka bbulooka.