Beenie Gunter bamukyayidde ku mutimbagano

OMUYIMBI Bennie Gunter akuba myuziki ekika kya ‘Dance Hall’, bamukyayidde ku mutimbagano ne bamukubamu n’ekipande. 

Beenie Gunter bamukyayidde ku mutimbagano
NewVision Reporter
@NewVision
#Kasalabecca #Beenie #Mboozi #Mutimbagano

OMUYIMBI Bennie Gunter akuba myuziki ekika kya ‘Dance Hall’, bamukyayidde ku mutimbagano ne bamukubamu n’ekipande. 

Nickie Berry abadde muganzi we, yamukubye ku kipande n’assaako obubaka nti baawukanye era ekipande n’akiwanika ku mutimbagano gwa yintanenti, abaliyo ne beerabirako.

 

Ku kipande, Nickie yategeezezza nti tewali kikyabagatta na muyimbi ono okuggyako omwana gwe baazaala omwaka oguwedde era tayagala omuntu yenna amweyogerezaako ku bikwatagana ne Bennie Gunter mu by’omukwano. 

Abasoma ag’omunda bagamba nti ebbanga omuyimbi ono lye yamala mu kkomera e Dubai lyali ddene mbu Nickie ne yeekyawa ng’obwomu bumutta.

 Mbu wano era we yafunira omusajja eyamubudaabuda kwossa n’okumugumya. Kyokka bino byonna, aboogezi be babitebya. Bennie Gunter yeegasse ku muyimbi munne Rickman eyakyayibwa Sheila Gashumba mu mbeera y’emu.

Login to begin your journey to our premium content