Greenade yeetondedde Kenzo ne badding'ana

Abayimbi, Eddy Kenzo ne Grenade badding'anye, ababiri bano babadde baafunamu obutakkaanya emyezi egiyise era Grenade n’alangira Kenzo obutaagaliza. 

Greenade yeetondedde Kenzo ne badding'ana
NewVision Reporter
@NewVision
#Kasalabecca #Olugambo #Bassereebu #Grenade #Eddy Kenzo #Kuyimba #Mpalana #Kudding'ana

Abayimbi, Eddy Kenzo ne Grenade badding'anye, ababiri bano babadde baafunamu obutakkaanya emyezi egiyise era Grenade n’alangira Kenzo obutaagaliza. 

Bino byonna okubaawo, kyava ku lutalo, Grenade lwe yalina ne muyimbi munne Rickman mu bbaala emu e Kamwokya omwali n’okwekasukira amacupa.

Grenade yavaayo n’alaga obutali bumativu mu kibiina kya bayimbi, Kenzo kyakulembera nti tekimuyambye era n’akyabulira. Ku Ssande e Munyonyo, Grenade yakutte akazindaalo ne yeetondera Kenzo era ne beegwa mu kafuba olwo enduulu n’eraya mu bawagizi.

Login to begin your journey to our premium content