OMUYIMBI Rickman Manrick akawang'amudde, bw’atageezezza nti alina enteekateeka z’okunnyuka okuyimba mu 2028 kyokka nga mulimu abawagizi abatankana nti oba ddala muyimbi.
Ono yaliko muninkini wa Sheila Gashumba era abamu ku bamanyi myuziki we beewuunya nti ate omuntu eyaakayingira endongo, ate annyuka atya amangu ago nga tannannyikira.
Yeewozezzaako nti ennaku zino takyafulumya nnyimba kumu kumu nga bwe kyali nga yaakatandika myuziki nti kuba yeewa obudde asobole okukola myuziki anaabeerawo ebbanga lyonna.
Ayongerako nti takola myuziki lwa ssente wabula bimunyumira wadde ng’ekisaawe ayagala kukinnyuka mu 2028 nga mu mwaka ogwo mw’ajja n’okukolera ekivvulu kye ekisooka era ekinaasemba.