Oluvanyuma lw'omuyimbi Eddy Kenzo okusisinkana Pulezidenti Museveni kyategeezeddwa nti ekitongole kya UNMF kyayiiseemu obuyambi 20 bwe ddu!.
Olugambo luno lwasasaanye ku mikutu egyenjawulo era ab'ekiwayi kya UMA (Uganda Musicians Association) ekikulirwa omuyimbi Cindy Ssanyu tebyabasanyudde n'akamu!.
Cindy atiisizza okwekalakaasa olw’ensimbi zino. Alowooza nti si kya bwenkanya okuddira ssente ezo zonna n'oziwa ekibiina kimu, abalala n'obaleka ebbali.
"Tugezaako okwogerezeganya nabo naye bwe kinaalemererwa, tujja kufuna engeri endala etali ya mirembe gye tunaagoberera. Si kya bwenkanya okufulumya ssente ezo zonna ku kibiina ekimu kyokka, ebibiina eby'abayimbi ebisigadde ne biviiramu awo," Cindy bwe yattaanyizza mu yintavuyu emu.
Wabula Eddy Kenzo agamba nti tennafuna ssente zonna okuva ewa Pulezidenti Museveni ng'engambo bwe zizze zibungeesebwa.