EBIFAANANYI ebiraga omuyimbi Cindy ku siteegi nga alinga ali olubuto byabuutikide omutimbagano gye buvuddeko.
Wano buli omu yabadde yeebuuza oba byaddala mwana muwala ono mu bbanga ettono yazzeemu okuyoya obuyembe.
Abalala baatandise okwetumiikiriza nga bamuwa amagezi g’okukozesa enkola y’ekizaalaggumba okwewala okukaddiwa.
Mu engeri etali ya bulijjo, Cindy yavuddeyo n’abisambajja n’ategeeza nga bw'atali olubuto. Cindy mufumbo era alina abaana 3 ng’ababiri yabazaala mu Joel Okuyo kw'ossa n'omuwala omukulu gwe yazaala mu muzungu Mario.