OMUYIMBI Eddy Kenzo tatudde. Omwaka guno, mwe yatandikira federeesoni egatta abayimbi (Uganda National Muscians Federation) wadde ng’abamu baagikubamu ebituli wabula n’alemezaako omuliro era kati balina we batuuse.
Nga pulezidenti w’ekibiina kino, yasitudde banne ppaka wa mukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni, ne bagenda ne ku kijjulo kyokka nga baasoose kuteesa ku by’amakulu. Kenzo agamba nti baateesezza ku bintu ebiwerako ebikwata ku kisaawe ky’okuyimba.
Kenzo Ng'ali Ne Pulezidenti Museveni.
Muno mwe mwabadde okukyusa mu tteeka erya ‘Copyright and Neighbouring Rights Act 2006’ erivunaanyizibwa ku nnyimba abayimbi ze bafulumya era Museveni n’akkiriza okulondoola we lituuse mu bwangu.
Mu birala bye bakkiriziganyizzaako, kwe kuli n’ensako ey’enjawulo gy’agenda okuwa abayimbi era abagasomera mu bbaasa bagamba eri eyo ya buwumbi.
Ekifo awagenda okubeera buli ekikwata ku buli munnabitone nakyo kyayogeddwaako era kyakutandika okuzimbibwa mu bbanga eritali lya wala.
Kenzo eyabadde ayambade essuuti eya bbulu, guno gwabadde mulundi gwe gwakubiri okusisinkana Pulezidenti.
Era waliwo ebigambibwa nti okufaananako oluyimba lwa ‘Stamina’ ezimu ku ennyimba ze eziriko ennaku zino, lwakukozesebwa mu kampeyini eza 2026.
Era mbu baakumugattako obuvunaanyizibwa bw’okulonda abayimbi abanaatalaaga eggwanga nga babunyisa enjiri ya NRM.
Wano, abamu we baagambidde nti asoose Cindy, eyasooka okulola ekibiina kya UMA okutuuka ewa Pulezidenti.