Sheebah akkirizza nti omuziki gwa Cindy gunyuma n'awanika...

CINDY, Jackie ne Lillian nga bano bayimbi abaali beegattira mu kibiina kya Blu3, baakoze ekivvulu ne bayimbira abadigize ne babalekamu ne ‘looko’. Mu banyumiddwa mwe mwabadde n’omuyimbi Sheebah Karungi eyawanise n’akagalo.

Sheebah akkirizza nti omuziki gwa Cindy gunyuma n'awanika...
NewVision Reporter
@NewVision
#Sheebah #Muyimbi #Kivvulu #Blu*3 #Cindy Ssanyu #Jackie Chandiru #Lilian Mbabazi

CINDY, Jackie ne Lillian nga bano bayimbi abaali beegattira mu kibiina kya Blu3, baakoze ekivvulu ne bayimbira abadigize ne babalekamu ne ‘looko’. 

Jackie (ku Kkono), Cindy Ne Lilian Nga Bayimba Ku Siteegi.

Jackie (ku Kkono), Cindy Ne Lilian Nga Bayimba Ku Siteegi.

Baayawukana emyaka 15 emyaka era mu kudding'ana, baakozeeyo ekivvulu ku Skyz Hotel e Naguru mu kye baayiyse ‘Exclusive performance’ era baakubye ennyimba zaabwe zonna mu maloboozi amaseeneekerevu. 

Baalaze omutindo nga kyabadde kizibu okukyefumiitiriza nti baabadde bamaze emyaka 15 nga tebayimbira wamu kuba ennyimba zonna baabadde bazikuba budinda. Mu banyumiddwa mwe mwabadde n’omuyimbi Sheebah Karungi eyawanise n’akagalo.

Login to begin your journey to our premium content