Kasalabecca

Cindy yeewozezzaako ku by'empeta etali ku ngalo

CINDY Ssanyu ne bba Joel Okuyo, baakola embaga mawuuno mu 2021. 

Cindy yeewozezzaako ku by'empeta etali ku ngalo
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

CINDY Ssanyu ne bba Joel Okuyo, baakola embaga mawuuno mu 2021. 

Kyokka ng’abamu ku boogezi be bataabakubira bigambo, babadde beebuuza lwaki Cindy takyatijja nnyo ne bba.

 Ate abalala nti osanga buli omu ali bibye nga y’ensonga lwaki, n’empeta eyamwambazibwa, Cindy takyagirina. 

Wabula yabaanukudde nti empeta ye, yali ku kivvulu ekimu ne bagimubbako. Era agiwaanye nti yali ya bbeeyi nnyo.

Tags:
CIndy
Bba
Musajja
Kutijja
Laavu
Celeb