OMUYIMBI Jose Chameleone ayongedde okuteeka akazito ku muyimbi munne Patrick Mulwana amanyiddwa nga Alien Skin ku bigambibwa nti alina akakwate ku kufa kw’omuzinyi Wilfred Namuwaya abadde yeeyita Top Dancer.
Chameleone ng’ayita ku mukutu gwe gwa X, yagambye minisita w’abavubuka Balaam Barugahara aveeyo akulemberemu olutalo lw’okukola ku Alien Skin, kubanga eggwanga likaabye ekimala olw’effujjo lye.
Yayongeddeko nti ye kennyini azze atiisibwatiisibwa Alien Skin ne guluupu ye, kyokka n’asalawo okusirika akuume emirembe, naye we bituuse wateekwa okubaawo ekikolebwa.
Minisita Balaam naye mu kukwanukula Chameleone yakkaanyizza naye, era n’asaba ebitongole byokwerinda okwang’anga obumenyi bw’amateeka buno awatali kutya wadde okuttira omuntu yenna ku liiso kuba teri ali waggulu w’amateeka.
Balaam yalabudde nti singa effujjo nga lino terikolwako, Uganda yandifuna obuzibu bw’agabinja g’abamenyi b’amatteeka agatwalira amateeka mu ngalo ne goonoona ensi, nga bwe kiri mu ggwanga lya Haiti.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala, Patrick Onyango yagambye nti Poliisi ekyanoonyereza ku fayiro y’okuttibwa kwa Top Dancer, era abanoonyerezebwako ye Alien Skin yennyini, ne basajja be okuli Babu, Commander Mudogo, Ibra Kabadiya ne Mijagulo.
Kiteeberezebwa nti bano be baakuba Namuwaya (Top Dancer) nga bamuvunaana okubaddukako mu kibinja kyabwe.
Okusinziira ku katambi akatambula ku mikutu gya ‘social media’, akaakwatibwa nga Top Dancer tannafa, kamulaga ng’agalamidde wansi ku seminti, ng’aliko bannyonnyola nti musajja wa Alien, Babu yamusanga mu Ndeeba n’amukwata, n’amutwala ku kitebe kya Alien Skin ekya Fangone Forest e Makindye mu Kizungu ne bamukuba mu lubuto ne ku nsingo ne bamubbako n’essimu ye eya Samsung, kwossa omuzindaalo gwe.
Ensonda ku poliisi e Katwe zaategeezezza Bukedde nti nga fayiro ya Top Dancer tennajja, babadde balina fayiro endala bbiri ku Alien Skin nga zeekuusa ku kufa kw’abantu. Wabula bwe twabuuzizza Onyango ku fayiro zino yagambye tazimanyi, okuggyako emu yokka eya Top Dancer.ALIEN SKIN YEEWOZEZZAAKO
Alien Skin yavuddeyo ng’ayita ku mikutu gye egya ‘social media’, ne yeegaana eby’okutta Top Dancer, era n’agamba nti zino ntalo za bayimbi, abamulwanyisa.
Yawadde eky’okulabirako nti fayiro y’okufa kwa Top Dancer abasinga okugipika bayimbi, era poliisi tebaagala kugiwa mukisa kunoonyereza, wabula baagala kulaba Alien Skin nga ali mu kkomera.
Era yagambye nti ye tagenda kwekweka kubanga si muzzi wa misango, nga emboozi ezigenda maaso zonna zigendereddwaamu kumunafuya.
Alien Skin azze attunka n’abayimbi naddala aba ffamire ya Mayanja okuli Chameleone ne Pallaso, era abavubuka abagambibwa okuba aba Pallaso baasalako Alien Skin ne bakuba mmotoka ye, era ye okubasimattuka yayita mu ddirisa. Bano baali beesasuza olw’effujjo lye balumiriza Alien Skin okubakolako enfunda eziwera.
Omwaka oguwedde Alien Skin yasindikibwa e Luzira, oluvannyuma lw’ekibinja kye okusalako eddwaaliro ly’e Nsambya ne bakola effujjo eritagambika omwali n’okukuba abasawo nga babavunaana olw’okulagajjalira mukwano gwabwe n’atuuka okufa