Omuyimbi Jose Chameleone ng’akyali mu lugendo lw’okuwona obulwadde okuva lwe yalongoosebwa mu lubuto, asala ntotto bw’adda ku maapu.
Ge tufuna galaga nti akomezzaawo Fred Zink Kinene ku bwamaneja ng’ono y’omu ku baasooka okuba ba maneja be.
Robert Nkuke, Jackson amanyiddwa nga Mutima abadde naye emyaka 11, yasinzidde ku mukutu gwa ‘Facebook’ ne yeebaza olw’ebbanga lye bamaze bonna era n’ayagaliza ebirungi amuddidde mu bigere.