MOSES Ssali amanyiddwa nga Bebe Cool, enjogera ya ssente weekuba egonzaawo yagitegeera nnyo.
Bebe yanyumizza nga bwe baamukolokota amasavu ku lubuto nga ye ensonga lwaki ennaku zino yakola abazungu kye bayita ‘six packs’ mu kifuba.
Moses Ssali bw'afaanana
Mbu yafuna ekirwadde ekikambwe ekyamumalako emirembe nga kimwetaagisa okumira amakerenda buli kadde.
Bino yalaba abikooye kwe kusalawo agende e Turkey ng’eno gye baamukolerako n’afuuka omuvubuka envuumuulo. Okulongoosebwa kwa Bebe kwatandikira mu bigambo ebiseera we yagendera ne mukyala we Zuena ebweru.