MUKAWEFUBE w'okukulaakulanya eby'obulambuzi mu ggwanga , ebitongole eby'enjawuulo ebyobulambuzi okuli Uganda Tourism Board ( UTB) Uganda Wildlife Authority (UWA) n'ebirala bitandise okutambuza emyoleso mu bitundu by'eggwanga ebyenjawuulo okusobola okulaga ebikolebwa mu bitundu ebyo.
Agamu ku mazina agaayoleseddwa ku kuvvulu ky'ebyobulambuzi
Wano batandikidde Gulu mu Kivulu ekimanyibwa The Gulu City Oktoberfest 2025 nga kino kirabidwaako mu ggwanga lya German era nga mu baamu okwolesa ebintu ebyenjawulo okuli ennyambala , amazina , emmere n'ebintu ebirala bingi.
Omulamwa gwa kukulaakulanya bya bulambuzi mu kibuga kye Gulu okuyambako abantu okutunda ebintu byabwe kwosa n'okumanyisa abantu ebifo bye byo bulambuzi mu district ye Gulu nensonga endala nyingi .