Kasalabecca

Victor Kamenyo n'eyali muninkini we beesazizza!

OMUYIMBI Victor Kamenyo asisinkanye eyali muninkini we Ruth Akoragye ne beemoola ne baleka abalabi nga basobeddwa.

Victor Kamenyo n'eyali muninkini we beesazizza!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

OMUYIMBI Victor Kamenyo asisinkanye eyali muninkini we Ruth Akoragye ne beemoola ne baleka abalabi nga basobeddwa.

Baasisinkanye ku kabaga k’amazaalibwa g’omwana w’omu ku mikwano
gyabwe, era Ruth bwe yaweereddwa akazindaalo okubaako ky’ayogera ate yazze mu kuwaana Kamenyo nga bw’alina omutima omulungi era tebeerinaako nnooma yonna. 

Wano abaabadde ku kabaga we baatandikidde okwekuba obwama nti Kamenyo ne Ruth bandiba nga badding'ana kuba Ruth yabadde yeemoola bulala nga bw’akwata ku Kamenyo mu ngeri ey’ekiraavulaavu.

 Ne Kamenyo yategeezezza nti wadde ebyaliwo byaliwo, naye baasigala ba mikwano. Ababiri bano bazze baawukana nga bwe badding'ana.

Tags:
Kamenyo
Victor
Ruth