Kasalabecca

Abalwanirizi b'eddembe ly'ebinyonyi aba Avia conservation Uganda bategese emisinde egy'okumanyisa bannayuganda ku ddembe ly'ebinyonyi

Abalwanirizi beddembe lyebinyonyi aba Avia conservation Uganda bategese emisinde egy'okumanyisa bannayuganda ku ddembe ly'ebinyonyi.

Abamu ku bagenda okwetaba mu misinde gino
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Abalwanirizi beddembe lyebinyonyi aba Avia conservation Uganda bategese emisinde egy'okumanyisa bannayuganda ku ddembe ly'ebinyonyi. Emisinde gino gigendereddwamu okutuuka eri ebitundu ebirimu ebionyonyi, abemikago gy'obutonde n'ensolo z'omunsiko. 

Abamu ku bagenda okwetaba mu misinde

Abamu ku bagenda okwetaba mu misinde


Ekitongole kino kyatandikawo mu 2022 n'ekigendererwa ekyokukuma ebinyonyi n'egyebisula ssaako n'okutaasa ebyo ebibeera mu bulabe.
Emisinde egitegekeddwa gyakuyambako mu kumanyisa n'okusasanya obubaka obwemigaso gyebinyonyi omuli okutumbuula ebyobulambuzi, okulaga obutyabaga ebinyonyi byebisanga nengeri yokubitasaamu.  

Abamu ku bagenda okwetaba mu misinde gino

Abamu ku bagenda okwetaba mu misinde gino


Allan Matsiko omukwanaganya wemisinde gino alambuludde ku migaso gy'okukuuma ebinyonyi nga biwamu wakati mu kuyigganyizibwa mu bifo gyebiuwangaalira. 
Emisinde gino egigenda okubeera egya kilomita 10 gyakubaawo nga ennaku zomwezi 19 omwezi guno nga gyakusimbulwa mu bimuli bya Sheraton mu kampala
Tags: