ALIEN Skin, afulumizza olukalala lw’abantu ababadde bamuyeeya n’okusaakaanya olw’emitawaana gy’abaddemu.
Wiiki ewedde, Alien, yakwatibwa poliisi, abitebye ku bigambibwa nti alina ky’amanyi ku muvubuka eyakubwa abagambibwa okubeera mu ggaali ye era omuvubuka ono n’afa.
Alien skin Anoonyezebwa
Bano agamba agenda kubasabira essaala embi ng’omwaka guno tegunnaggwaako, nabo batuukibweko emitawaana ng’egigye egimuwuuba mu kaseera kano.