District Gavana wa Rotery namba 9213 Edward Kakembo Nsubuga , atongozza ebinaabiro n'ebiyigo ku ssomero lya Kira secondary school erisangibwa mu Kira munisipaali.
Ebinaabiro bino byazimbiddwa aba Rotary ye Kira ekulibwa Lilian Ntuulo Joloba, nga president, nakuutira abayizi naddala ab'obulenzi okujjumbira okunaaba n'agamba nti balina omuze gw'obutayagala kunaaba ekintu ekikyamu.
Aba Rotary nga bamaze okutongoz ebinaabiro
Gavana Kakembo asabye aba Rotary wadde nga kampeyini gyebaliko mu mwaka guno yakutumbula mwana mulenzi, n'aboobuwala ate baleme kubasuulirira nnyo kubanga nabo ensi ebetaaga.
Yeebazizza Rotary club ya Kira, olw'okuzimba ebinaabiro n'ebiyigo ebyomulembe ku ssomero lino, era n'akuutira aba Kira ss ngayita mu headmaster waabwe Ronald Kato ebinaabiro ebyo n'ebiyigo babikozese bulungi ddala baleme kubyonoona, era namusiima olwokubegattako.
Aba Rotary nga batongoza ebinaabiro ku ssomero lya Kira secondary school
Lilian Ntuulo Joloba pulezidenti wa Rotary club ya Kira, yeebazizza banaRotery banne aba Kira okubeera obumu naye nebayamba essomero lya Kira naddala ku mwana owobulenzi nebabazimbira ebinaabiro.
Agambye asabye banaKira okuyingira Rotery kubanga mwemuli eddiini.Rotery eyamba abantu baabulijjo, yeenyira nnyo mubyobulamu, ebyenjigiriza, ate netumbula abantu mubyenfuna.
Jeremiah Mugisha omuyizi ku Kira ss s.2 asiimye nnyo aba Rotery ya Kira okubadduukirira nebinaabiro ebyomulembe kubanga tebabadde nabyo