ROBERT Kyagulanyi Ssentamu eggulo yasiibye atalaaga munisipaali ya Makindye Ssaabagabo n’ey’e Ntebbe ng’anoonyeza ababaka ba NUP okuli n’omubaka omukazi owa Wakiso, bammeeya ne bakansala akalulu.
Mu munisipaali ya Ssabagabo olukungana yalukubye ku kisaawe ky’e Busaabala ng’eno yayaniriziddwa omubaka w’ekitundu kino era akwatidde ekibiina bendera David Sserukenya ne Yusufu Bugagga alina kkaadi y’obwammeeya.
Mu munisipaali y’Entebbe olukungana lwakubeera ku kisaaawe kya Tanda e Kitubulu kyokka bano baasoose kufulumya kiwandiiko nga balaga nti ettaka lino liriko okusika omuguwa.
Mu ngeri yeemu n’abakulira omuzikiti gw’e Ntebbe nga bakulembeddwamu omukulu w’ettwale, Rajib Twesigye bawandiikidde ekibiina kya NUP nga bategeeza nti ebbaluwa gye baasooka okuwandiika nga baddamu okubasaba kwabwe baagiwandiika tebeebuzizza ku bakama baabwe aba Uganda Muslim Supreme Council abayimirizza enteekateeka zino.
Entebbe kkaadi yaweebwa Joyce Nabatta Namuli ng’ono avuganya n’omubaka aliyo Micheal Kakembo Mbwatekamwa eyegatta ku kibiina kya Democratic Front (DF) n’abalala.
Kyagulanyi yatadde obubaka ku mukutu gwe ng’alaga bwe bafunyemu okutaataaganyizibwa era nga baabadde bakyali mu kunoonya kifo kirala.
Abalala Kyagulanyi be yabadde anoonyeza alalulu ye mubaka omukyala owa Wakiso, Betty Ethel Naluyima ng’ono anoonya kisanja kyakubiri ku kkaadi y’ekibiina.