Amawulire

Ttuleera esaabadde mmotoka ku lw'e Gulu bana ne bafuna ebisago eby'amaanyi

ABANTU bana be baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago nga biwala ttaka mu kabenje akagudde e Katalemwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu oluvannyuma lwa lukululana okusaabala emmotoka bbiri nga abazibaddemu ne bafuna ebisango.

Ttuleera esaabadde mmotoka ku lw'e Gulu bana ne bafuna ebisago eby'amaanyi
By: Wasswa Ssentongo, Journalists @New Vision

Bana bafunye akabenje ne baddusibwa mu ddwaaliro

ABANTU bana be baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago nga biwala ttaka mu kabenje akagudde e Katalemwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu oluvannyuma lwa lukululana okusaabala emmotoka bbiri nga abazibaddemu ne bafuna ebisango.

Akabenje kano kagguddewo obudde bwe bubadde bukya ku olwaleero era mmotoka ssatu okuli Lukululana nnamba UBD 396 D eno ebadde egenda Kampala ng’edduka misinde okukkakkana nga esanze emmotoka edala ekika kya vitz nnamba  UBB 351 R ebadde edda e Luwero nga muno mubaddemu abantu babiri.

Oluvannyuma lwa Vitz okutomerwa Lukuluna, Vitz etagadde mu kubo nayo kwe kutomera emmotoka endala ekika kya prado nnamba UBD 921E ne bambalagana nga mu kabanje kano abantu bana okuli ababadde mu mmotoka ya Vitz babiri saako n’ababadde mu lukululana wamu ne ddereeva wa Prado bayisiddwa bubi era ne baddusibwa mu ddwaliro e Mulago okufuna obujjanjabi.

Omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga, Micheal Kananura agambye nti batandise okunoonyerezza ku kabenje kano okuzuula ekituufu ekivuddeko lukululana okutomera emmotoka zino kyokka n’agamba nti abakoseddwa balinze bafune obujjanjabi n’oluvannyuma bakole sitaatimenti.

Emmotoka zino ziggyiddwawo ne zitwalibwa ku poliisi y’e Watuba ng’okunoonyerezza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Bisago
Gulu
Mmotoka
Kusaabala
Maanyi