Amawulire

Muka Polofeesa Kateregga atabukidde abamusibako okuganza omunene wa poliisi

Nnaalongo Shubaiha Kateregga mu kiwandiiko kye yafulumizza, yagambye nti mu bulamu bwe tasisinkanangako Magambo mu buntu era teboogerangako, ate era talina nkwatagana yonna mu bya bizinensi n’omunene oyo.

Muka Polofeesa Kateregga atabukidde abamusibako okuganza omunene wa poliisi
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

MUKYALA wa Polofeesa Badru Kateregga, Nnaalongo Jolly Shubaiha Kateregga atabukidde abamulumiriza okuganza omunene mu poliisi.

 

Bino biddiridde amawulire okusaasaana ku mitimbagano nga giraga nti Polof. Kateregga alina okwemulugunya olwa mukyala we okupepeya n’omunene mu poliisi, kyokka kino Nnaalongo Kateregga agambye nti kigendereddwamu kumwonoonera linnya.

Polof Kateregga.

Polof Kateregga.

Nnaalongo Shubaiha Kateregga mu kiwandiiko kye yafulumizza, yagambye nti mu bulamu bwe tasisinkanangako Magambo mu buntu era teboogerangako, ate era talina nkwatagana yonna mu bya bizinensi n’omunene oyo.

 

 Ebibungeesebwa yagambye nti tebiriiko mutwe na magulu era bigendereddwamu kumwonoonera linnya, n’ery’omukozi wa gavumenti akola emirimu gye mu mateeka. Yalabudde abatambuza amawulire gano nti ajja kubaggulako emisango babitebye singa tebakikomya. 

 

Kinajjukirwa nti Kateregga yafuna obutakkaanya ne mukyala we ono, era amulumiriza nti yamukuba era kaabula kata afe, n’ekigendererwa eky’okuwamba eby’obugagga bye. Ebimu ku bibakaayanya, ge maka ga Kateregga amatiribona agali e Buziga, agabalirirwamu obuwumbi butaano.

Amaka Ge Baali Babeeramu

Amaka Ge Baali Babeeramu

Omunene mu poliisi ye yasoose okuvaayo mu mboozi ey’akafubo gye yabaddemu ne New Vision, n’asambajja ebitambula ku mikutu gya Social Media nga bamugatta mu nkaayana za Kateregga ne mukyala we.

 

Yagambye nti mu bulamu tasisinkanangako Kateregga oba mukyala we mu buntu era ebigambibwa nti alina enkolagana yonna ey’obuntu n’abantu bano bikyamu nnyo era tebirina mugongo.

 

Yatangaazizza nti Poliisi oludda lwa Kateregga gye lunenya terina kakwate mu nsonga zaabwe, kubanga baalungamizibwa omuwaabi wa gavumenti nti ensonga ezo za kukaayanira bya bugagga, nga zirina kukolwako kkooti so si Poliisi.

 

Ekyo omunene agamba nti baakitegeeza abantu bano bombi okuyita mu balooya baabwe, era Kateregga byalowooza nti poliisi erina obuyinza n’amaanyi okuggya Nnaalongo we mu nnyumba gye bakaayanira kikyamu, era birina kukolwako kkooti.

 

Ebiragiro ebirala byonna ebitali mu mateeka, yagambye nti poliisi tesobola kubikkiriza, kubanga erina obuvunaanyizibwa okukuuma amateeka g’eggwanga.

 

Kateregga ne Nnaalongo we bazze bagugulana, ekyatuusa ne Kateregga okubuusabuusa abaana abasatu be yazaala mu Nnaalongo.

 

Kkooti yalagira ne babatwala ku DNA, era ebyavaayo byalaga nti abaana ababiri be ba Kateregga naye omu si wuwe, ekintu Nnaalongo kye yawakanya n’asaba baddemu bakebere DNA eno mu ggwanga lya America.

Tags:
Amawulire
Kateregga
Yinginiya