Omugagga K.K ayiye mu Express kavu: Njagala kikopo sizoni eno

SSENTEBE wa Express FC Kiryowa Kiwanuka ayogezza ssente bw'alabiseeko ku mupiira nga ttiimu y'ekuba Onduparaka 2-0 e Wankulukuku n'abasaba ekikopo kya Stanbic Uganda Cup ne liigi.

Omugagga K.K ayiye mu Express kavu: Njagala kikopo sizoni eno
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Kiryowa Kiwanuka #Express FC
Ono bukya sizoni eno 2020/21 etandika abadde talabikangako ku mupiira gwonna nga ttiimu ye esamba wabula ku Lwokubiri bwe yalabiseeko e Wankulukuku yakutte mu nsawo n'aggyamu ddoola 1000 (eza Uganda 3,650,000) ng'akasiimo olw'omutindo gwa Express sizoni eno era wano we yasinziiridde n'abasaba ekya Uganda Cup ne Liigi.
 
"Mbadde mbabuze ku maaso okumala ebbanga naye tubadde ffenna mu mwoyo naye mwebale olw'omutindo omulungi era nsaba sizoni eno twekubeko enfuufu waakiri n'ekikopo kya Stanbic Uganda Cup oba ekya Liigi kuba byonna bisoboka," Kiwanuka bwe yategeezezza.
 
Obuwanguzi bwa Express bwaginywerezza mu kifo ekyokusatu n'obubonero 43 emabega wa SC Vipers(46) ne URA FC(47).
 
Ezzaako kukyaza URA FC ku Lwomukaaga lwa wiiki eno mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup oluzannya olusooka.