Nga bawangula Villa 1-0 Senkaaba ye yateeba, ate Lwesibawa n’ateeba nga balemagana 1-1 ne Mbarara.
Ggoolo ya Express endala yateebeddwa Charles Musiige.
WASSWA BBOSA YEEWAANYE
Mu mipiira esatu egy’omuddi-rihhanwa, Express eteebeddemu ggoolo 11, ekibadde tekitannabaawo mu liigi ya sizoni eno. Bright yeebadde egezezzaako okuteeba ennyingi wabula yaziteebedde mu mipiira 4.
Omutendesi wa Express, Wasswa Bbosa yagambye nti eno sizoni yajja na nkuba mpya, n’alabula be batannazannya okubeelinda.
“Mukama wange Kiryowa Kiwanuka bwe yampa omulimu n’andagira okutereeza ttiimu, nnakimanyirawo nti nnina okuyiiya ebipya okutuukiriza ekigendererwa kya ttiimu. Buli kiro ntuula mu bitabo n’okutunuulira obutambi bw’abatendesi abakugu okubaako bye mbayigako, era bye bimu ku by’entwala mu bazannyi bange,” Bbosa bwe yategeezezza.
BUL ETABUKIDDE MYDA
Mu ngeri y’emu, BUL FC, ebadde yaakakubwa emipiira esatu egy’omuddirihhanwa, yatabukidde MYDA bwe yagittimpudde ggoolo 4-1. Omupiira guno gwabadde mu kisaawe e Bugembe, era BUL yawezezza obubonero 10 mu mipiira 10.
Joseph Semujju, Musa Esenu, Anwar Ntege ne Simon Oketch be baateebedde BUL ate Moses Batali n’ateeba eya MYDA