KYAGULANYI ayongedde okutega kkooti obulippo, oluvannyuma lw’okugoba obujulizi bwe yabadde ayagala okwongera mu musango mw’awakanyiza obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni mu kalulu ka January 2021.
Ku Lwokutaano abalamuzi munaana kw’abo omwenda abatuula ku kkooti ey’oku ntikko baagobye okusaba kwa Kyagulanyi ne bategeeza nti ensonga kwe beesigamye
bajja kuzanjula mu nsala y’omusango eyaawamu.
Obujulizi bya birayiro 200 Kyagulanyi bw’abadde ayagala bakkirize mu kkooti oluvannyuma lw’okubutwalayo ng’ennaku ezaamuweebwa ziweddeko.
Bannamateeka ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) abaakulebeddwa Medard Lubega Sseggona bagamba nti obujulizi kkooti bwe yagaanye okugattako mulimu vvulugu eyakolebwa mu kalulu n’engeri akakiiko k’eby’okulonda gye kaalangiriramu
Museveni mu bukyamu.
Ssegona Eyakulidde Balooya Ba Kyagulanyi.
Kyagulanyi yagamba nti ku birayiro bino kwe yeesigamye nga singa bigobwa yandiwalirizibwa okuggyayo omusango guno gudde mu kkooti y’abantu.
Wadde Sseggona ku lwa bannamateeka banne baategeezezza nti bagenda kusooka kwebuuza ku Kyagulanyi ku kye balina okuzzaako, kyokka ensonda mu NUP zaategeezezza nti bakyalina obulippo obulala bwe bategese okutega abalamuzi mu kkooti ensukkulumu okwongera okubateeka mu kattu.
Sseggona yagambye nti ebirayiro ebitakkiriziddwa kugattibwa mu musango byabadde birambika bulungi enziba Museveni gye yakozesa akakiiko k’ebyokulonda
abafu ne balonda, okutulugunya bantu ssaako okubasiba byonna ne bikosa okulonda.
Kyokka looya wa Museveni Kiryowa Kiwanuka, ow’akakiiko k’ebyokulonda Joseph Matsiko ssaako ssaabawolereza wa gavumenti William Byaruhanga baasimbye
ekkuuli okulemesa ebirayiro bino okuteekebwa mu musango nga bagamba nti byaleetebwa obudde buyise.
Kkooti yalagira obujulizi bwonna okuleetebwa obutasukka ssaawa 11:00 ez’akawungeezi ka Ssande nga February 14, 2021 wabula obujulizi obwo ne buleetebwa
kikeerezi.
Anthony Wameeri looya wa Kyagulanyi obujulizi yabuleeta ssaawa 12:00 ez’akawungeezi era omuwandiisi wa kkooti Harriet Ssali n’abugoba kyokka Ssegona
yagambye nti balwayo kubanga baali banoonya abajulizi mu makomera gye baasibirwa okwetooloola eggwanga.
Kino kyawakanyiziddwa Kiryowa ne banne nga bagamba nti tewali bujulizi bulaga
nti abantu aboogerwako mu bujulizi nti baali mu kkomera.
Balooya Ba Nup Lwe Baawaaba Omusango Gwabwe Mu Kkooti.
OBULIPPO ABA NUP BWE BATEGESE
l . Akamu ku bulippo bwe bategese ke k’okuteekayo okusaba mu butongole nga basaba
abalamuzi abasatu Kyagulanyi be yeemulugunyaako omuli; ne Ssaabalamuzi yennyini bave mu musango olwa kye yayita kyekubiira ng’ava ku nkolagana gy’agamba abalamuzi abasatu gye balina n’abakungu ba gavumenti omuli ne Pulezidenti Museveni.
Kyagulanyi ayagala Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, n’abalamuzi babiri Mike Chibita ne Ezekiel Kurabiraho Muhanguzi bave mu musango ng’agamba nti
tebayinza kugulamula mu bwenkanya olw’akakwate ke balina n’abali mu gavumenti.
Kyagulanyi alumiriza nti Ssaabalamuzi Dollo era alabwako mu nkukutu ng’asinsikana ne Museveni okuva omusango guno lwe gwatwalibwa mu kkooti so nga ne ku mikolo kwe babadde amusuubizza mu lwatu nti waakusala omusango mu mazima n’obwenkanya nga bwe bazze basala bulijjo,
Kyagulanyi ky’agamba nti kyalagirawo oludda Dollo kwe yeewunzise n’anokolayo n’ebyo Dollo bye yasaba Pulezidenti Museveni abikolere abalamuzi ng’omwaka
ogujja tegunnaggwaako, kyokka ng’omuntu gw’asaba ebintu ebyo alina omusango ogwamuggulwango okusazaamu akalulu ogutannaba kusalibwa.
Ssinga abalamuzi bano tebava mu musango Kyagulanyi yagamba nti ayinza okuwalirizibwa okuggyayo omusango ekintu ekirabika ng’abalamuzi kye batandyagadde.
Kyokka Ssaabalamuzi yagambye nti tewali muntu yenna ayinza kumutiisatiisa era mwetegefu okusala omusango guno mu mazima n’obwenkaya n’asaba enjuyi zonna zimwesige.
Dollo okwanukula Kyagulanyi yabadde ayanukula Ssaabawolereza wa gavumenti bwe
yayanjulidde kkooti nti Kyagulanyi yasinziira mu lukuhhaana lwa bannamawulire n’ategeeza nga bwe waliwo abalamuzi basatu abasaanye okuva mu musango
gwe, kubanga ateebereza nti bajja kwekubiira ku ludda lwa Museveni, olwo ye (Kyagulanyi) aleme kufuna bwenkanya.
Ensonda zaategeezezza Bukedde nti eky’okuwandiika mu butongole nga balooya ba NUP basaba abalamuzi bave mu musango kikyaliko okusika omuguwa kubanga
balooya abamu naddala abalina amannya baakitidde okwewala olukongoolo abalamuzi lwe basobola okussa ku looya yenna abeera ataddeyo okusaba okw’ekika ekyo
okutunuulirwa ng’okulengezza abalamuzi.
“Okusaba kuno bwe kuba kwa kuteekebwayo, aba NUP mpozzi bayinza okukozesa looya atalina ky’afiirwa nnyo.” Omu ku bakulembeze mu NUP era nga naye
munnamateeka bwe yategeezezza Bukedde.
Yagasseeko nti okusaba kw’okuwaliriza abalamuzi okuva mu musango kuterwa kukolwa bantu nga Male Mabiriizi abatalina kye bafiirwa nnyo kubanga essuubi ly’okuwangula okusaba okw’ekika ekyo ttono nnyo kubanga okusalawo kumpi kudda
eri omulamuzi oyo eyeemulugunyizibwako okusalawo oba adda ebbali.
Balooya Ba Bobi Nga Batuuka Mu Kkooti.
2. Akalippo akalala ke bategese kwe kussaayo okusaba okukkirizibwa okwongera ku budde bwe banaamala nga bawoza maaso ku maaso. Kkooti yalaga dda nti obujulizi
bw’egenda okwesigamako bulina kuteekebwa mu buwandiike era okuwoza ne kuweebwa eddakiika 30 zokka, ekintu Kyagulanyi ky’awakanya.
Essuubi ly’okuyisaamu okusaba okwo nalyo ttono kubanga kkooti yakimanya nti ekigendererwa ekikulu eky’okutwalayo omusango ssi kya kuguwangula wabula
kwongera kukuba bituli mu bitongole byonna ebyenyigira mu kalulu.
Okuwaayo obudde obungi mu kuwoza kirabise okuwakanyizibwa ennyo oludda lwa gavumenti olutaagala bunafu obwo kuvaayo ate nga n’abalamuzi nabo bagoba
budde okukakasa nti bawa ensala yaabwe nga March 18, 2021 terunnayita.
3. Oludda lwa Kyagulanyi lwali lwagala kkooti eyite Museveni ne Ssentebe w’akakiiko
k’eby’okulonda Byabakama Mugenyi okulabikako mu buntu babuuzibwe ebibuuzo mu kkooti kyokka ekyo nakyo kiyinza obutakkirizibwa.
Kati abawawaabirwa basuubirwa okumalayo okwewozaako kwabwe, olwo ku Lwokusatu nga Febraury 24, 2021 kkooti eddemu okutuula okuwulira enjuyi zonna
nga zifunza ensonga kwe zeesigamye mu biwandiiko bye bawadde abalamuzi n’okuzinnyonnyolera mu bufunze.
Tekinnamanyibwa oba Kyagulanyi anaasalawo okuggyayo omusango guno nga bwe yayogera kyokka ensonda zaategeezezza Bukedde nti abamu ku balooya be balina okutya nti kkooti esobola okubasalira ssente z’okuliyirira abantu abasatu abaawawaabirwa nga ziri mu buwumbi ekiyinza okukosa enzirukanya y’emirimu
mu NUP; kyokka abawagira eky’okuggyayo omusango bagamba nti ensimbi tezibatiisa kubanga okusaba ennyingi nakyo kyongera kukuba bituli mu bawawaabirwa.
Emisango gyonna egizze gitwalibwa mu kkooti ensukkulumu nga bawakanya ebyavudde mu kalulu ka Pulezidenti okuli egyatwalibwayo Dr. Kizza Besigye
mu 2001, 2006 ne 2011, wamu n’ogwa Amama Mbabazi mu 2016, tekuli noomu kkooti gwe yasalira ng’eragira asasule ssente ezisaasaanyiziddwa oludda oluwawaabirwa.