KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku ensonga y’okuliyirira Museveni, akakiiko k’ebyokulonda ne gavumenti be yali yawaabira mu musango guno.
Abalamuzi mwenda bonna bakkanyizza n’okusaba kwa Kyagulanyi okuggyayo omusango guno nga bagamba nti omuntu eyaloopa omusango bw’asalawo okuguggyayo, tekiba na makulu ate okugulemeza mu kkooti. Kyokka bagambye nti ensonga mu bujjuvu kwe basinzidde okumukkiriza aguggyeyo bagenda kuzitegeeza.
Kati ensonga esigadde erindiriddwa ye y’okuliyirira abantu Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) be yali awawaabidde okuli; Yoweri Museveni, akakiiko k’ebyokulonda ne Ssaabawolereza wa gavumenti (Attorney General) kyokka ssente zino ezisuubirwa okubeera mu buwumbi, Kyagulanyi ng’ayita mu bannamateeka be abaakulembeddwa Medard Lubega Sseggona ayagala buli ludda luzeesasulire.
Nga February 1, 2021 Kyagulanyi yatwala omusango guno mu kkooti ey’oku ntikko ng’awakanya ebyava mu kulonda kwa January 14, 2021 era ng’ayagala kkooti esazeemu okulonda okwo bategeke okulonda okulala. Kyokka bwe yateekayo okusaba okw’emirundi ebiri okunyweza omusango gwe ne kugobwa n’asalawo okuggyayo omusango guno ng’agamba nti abalamuzi baalina oludda kwe bavugira omusango.
Looya wa Museveni Edwin Karugire yagambye nti Kyagulanyi yaleeta obujulizi bw’abantu 53 naye ku bano 15 ebirayiro byabwe byatwalibwa mu bakugu abeekebejja ebinkumu ne kizuulibwa nti baajingirira emikono gyabwe kyokka kino Sseggona yakiwakanyizza n’agamba nti tewali bujulizi buleeteddwa mu kkooti kukakasa nti emikono egyo gyajingirirwa.
Karugire yegattidwako Ssaabawolereza wa gavumenti ne looya w’akakiiko k’ebyokulonda Erison Karuhanga bonna bagamba nti bakkiriza omusango Bobi aguggyeyo kubanga abadde talina bujulizi, ekintu Sseggona kye yawakanyizza ennyo ng’agamba nti obujulizi babulina naye bakolera ku biragiro bya mukama waabwe Kyagulanyi okuggyayo omusango.
Wabula bonna Kyagulanyi be yawawaabira baategezeeza nti tebalina buzibu n’ekyokuggyayo omusango naye alina okubaliyirira ssente era ne basaba kkooti erangirire nti Museveni yalondebwa mu butuufu kubanga n’omusango ogwamuggulwako guggyiddwaayo. Kino Sseggona yakiwakanyizza ng’agamba nti ekyo kituukibwako ng’omusango gumaze kuwulirwa, kyokka ku musango oguggyiddwaayo, kkooti terina buyinza kulangirira ekyo.
Omulamuzi Stella Arachi ye yasomye ensala y’Abalamuzi bonna n’agamba nti: Tuwuliririzza ensonga okuva ku njuyi zonna era tukkiriza omusango guggyibweyo naye ensonga ezisingawo tujja kubayita tuzibategeeze. Amateeka gagamba nti omuntu aloopye omusango ng’awakkanya obuwanguzi bwa Pulezidenti abeera alangiriddwa, bw’asalawo okuggyayo omusango alina okuliyirira bonna be yali yaloopa.
Kyagulanyi yasabye kkooti ssente zino ezimusonyiwe buli ludda lwesasulire. Ssegona yagambye abalamuzi nti kkooti y’engeri yokka omuntu atamatidde na buwanguzi bwa kalulu ka pulezidenti gy’alina okuyitamu okubuwakanya era Kyagulanyi kye yakola kyali mu mateeka nga tekyetaagisa na kumubinika nsimbi za kuliyirira njuyi ze yawaabira.