Eby'omulambo gwa Looya eyafiiridde e Luzira bikyakalubye

Bya Stuart Yiga OMULAMBO gwa munnamateeka Bob Kasango eyafiiridde mu kkomera e Luzira ku Lwomukaaga oluwedde byongedde okuwanvuwa oluvannyuma lwa ffamire ye okulemererwa okukkaanya ku by'okumuziika. Ku Lwokubiri, omulambo gwatwaliddwa ku kkanisa ya All Saints e Nakasero  okugusabira kyokka oluvannyuma newabaawo ekibinja ky'abantu abazze nebagunyakulawo kkeesi mwegwabadde nebakuuliita nayo.  Patrick Onyango, ayogerera Poliisi mu bitundu bya Kampala n'emiriraano yategeezezza Bukedde nti, basobodde okusuuza abaabadde babbye omulambo era ne bagukwasa ab'ekitongole kya A-Plus Funeral Services, bagutereke. "Tulinze aba ffamire batuule bateese ku kifo webalina okuziika awo tulyoke tugubakwase oba si ekyo, bagende mu kkooti ebatabaganye," Onyango bweyagambye. Ekiro ekyakeesezza Olwokusatu munnamateeka Kiryowa Kiwanuka yakulembeddemu banne okwabadde Fox Odoi, Sebastian Orach, n'abalala ne basisinkana ffamire ezaala omugenzi okusala entotto ku ngeri gyebayinza okumalawo okugugulana okuliwo. Ensisinkano eno yabadde mu Mutungo mu divisoni y'e Nakawa mu Kampala, mu maka ga mwannyina w'omugenzi ayitibwa Agnes. Ensonda mu ffamire zategeezezza Bukedde, nti nnyina w'omugenzi yakkirizza mutabani we bamuziike e Fort Portal ng'abaana be ne Nnamwandu bwe baabadde basazeewo kyokka n'abawa akakkwakkulizo nti ye okuziika si wakukwetabamu. Kino kyalese abaabadde mu lukiiko nga tebamatidde nebagezaako okwegayirira maama w'omugenzi ne ffamire ye nga buteerere. Wabula abamu ku ba fffamire beekwasizza eky'entambula nti kiyinza okubalemesa okugenda e Fort, kyokka ne babagumya nti bajja kubafunira entambula eneebatwala. Olukiiko lw'Emutungo olwawedde Kiryowa Kiwanuka ne banne ne boolekera mu maka g'omugenzi e Butabika ne basisinkana Nnamwandu n'abaana okulaba ekiddako. Nnamwandu ne mu kiseera kino alina okukkiriza nti bba ajja kuziikibwa ku ffaamu ye e Fort Portal mu buli ngeri. Abakwanaganya ensonga z'okuziika oluvannyuma  batuukiridde taata w'omugenzi, Sam Okello okufuna endowooza ye ku by'okuziika. Yabagambye nti, mwetegefu okwaniriza omulambo gwa mutabani bwegunaaba tutwaliddwa e Tororo kubanga ettaka alina erimala w'ayinza okuziikibwa. Okello, amanyiddwa ng'omusajja omukkakkamu era munnadiini ng'ebiseera ebisinga yeewala ebintu by'okusika omuguwa. Kigambibwa nti aba ffamire y'omugenzi  beeyawuddemu abamu nga bawagira eky'okumuziika e Fort Portal ate abalala nga bakiwakanya nga bagamba nti omuntu waabwe tayinza kuziikibwa ku buko ng'akirako atalina ffamire mw'ava. Wabula eky'abalowooza nti Kasango bw'aziikibwa e Fort, abeera aziikiddwa ku buko abamu bagaanye okukkiriziganyannakyo nga bagamba nti mukazi we ava mu disitulikiti y'e Kabale so si Fort. Bwetwagendedde mu kyapa, nga Poliisi ekyakuuma omulambo gw'omugenzi kubanga ffamire zaabadde tezinatuuka kunzikiriziganya ku mutuufi alina okumuziika.

Eby'omulambo gwa Looya eyafiiridde e Luzira bikyakalubye
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
Bya Stuart Yiga
 
OMULAMBO gwa munnamateeka Bob Kasango eyafiiridde mu kkomera e Luzira ku Lwomukaaga oluwedde byongedde okuwanvuwa oluvannyuma lwa ffamire ye okulemererwa okukkaanya ku by'okumuziika.
 
Ku Lwokubiri, omulambo gwatwaliddwa ku kkanisa ya All Saints e Nakasero  okugusabira kyokka oluvannyuma newabaawo ekibinja ky'abantu abazze nebagunyakulawo kkeesi mwegwabadde nebakuuliita nayo.
 
 Patrick Onyango, ayogerera Poliisi mu bitundu bya Kampala n'emiriraano yategeezezza Bukedde nti, basobodde okusuuza abaabadde babbye omulambo era ne bagukwasa ab'ekitongole kya A-Plus Funeral Services, bagutereke.
 
"Tulinze aba ffamire batuule bateese ku kifo webalina okuziika awo tulyoke tugubakwase oba si ekyo, bagende mu kkooti ebatabaganye," Onyango bweyagambye.
 
Ekiro ekyakeesezza Olwokusatu munnamateeka Kiryowa Kiwanuka yakulembeddemu banne okwabadde Fox Odoi, Sebastian Orach, n'abalala ne basisinkana ffamire ezaala omugenzi okusala entotto ku ngeri gyebayinza okumalawo okugugulana okuliwo.
 
Ensisinkano eno yabadde mu Mutungo mu divisoni y'e Nakawa mu Kampala, mu maka ga mwannyina w'omugenzi ayitibwa Agnes.
 
Ensonda mu ffamire zategeezezza Bukedde, nti nnyina w'omugenzi yakkirizza mutabani we bamuziike e Fort Portal ng'abaana be ne Nnamwandu bwe baabadde basazeewo kyokka n'abawa akakkwakkulizo nti ye okuziika si wakukwetabamu.

 
Kino kyalese abaabadde mu lukiiko nga tebamatidde nebagezaako okwegayirira maama w'omugenzi ne ffamire ye nga buteerere.
 
Wabula abamu ku ba fffamire beekwasizza eky'entambula nti kiyinza okubalemesa okugenda e Fort, kyokka ne babagumya nti bajja kubafunira entambula eneebatwala.
 
Olukiiko lw'Emutungo olwawedde Kiryowa Kiwanuka ne banne ne boolekera mu maka g'omugenzi e Butabika ne basisinkana Nnamwandu n'abaana okulaba ekiddako.
 
Nnamwandu ne mu kiseera kino alina okukkiriza nti bba ajja kuziikibwa ku ffaamu ye e Fort Portal mu buli ngeri.
 
Abakwanaganya ensonga z'okuziika oluvannyuma  batuukiridde taata w'omugenzi, Sam Okello okufuna endowooza ye ku by'okuziika.
 
Yabagambye nti, mwetegefu okwaniriza omulambo gwa mutabani bwegunaaba tutwaliddwa e Tororo kubanga ettaka alina erimala w'ayinza okuziikibwa.

 
Okello, amanyiddwa ng'omusajja omukkakkamu era munnadiini ng'ebiseera ebisinga yeewala ebintu by'okusika omuguwa. Kigambibwa nti aba ffamire y'omugenzi  beeyawuddemu abamu nga bawagira eky'okumuziika e Fort Portal ate abalala nga bakiwakanya nga bagamba nti omuntu waabwe tayinza kuziikibwa ku buko ng'akirako atalina ffamire mw'ava.
 
Wabula eky'abalowooza nti Kasango bw'aziikibwa e Fort, abeera aziikiddwa ku buko abamu bagaanye okukkiriziganyannakyo nga bagamba nti mukazi we ava mu disitulikiti y'e Kabale so si Fort.
 
Bwetwagendedde mu kyapa, nga Poliisi ekyakuuma omulambo gw'omugenzi kubanga ffamire zaabadde tezinatuuka kunzikiriziganya ku mutuufi alina okumuziika.