Ensonda mu ManU zaategeezezza nti abagagga ba ManU aba famire ya Glazer baagala kumalawo busungu bawagizi bwe babalinako. Okukansa Kane abagagga bano bakiraba ng’ekisobola okumalawo obusungu abawagizi bwe babalinako.
Wiikendi ewedde, abawagizi ba ManU baazinze ekisaawe kya kyabwe ekya Old Trafford ne balemesa omupiira gwabwe ne Liverpool okuzannyibwa.
Bano baabadde beekalakaasa nga bagamba nti abagagga baakola kikyamu okuwandiisa ttiimu yaabwe mu liigi ya Bulaaya empya eyali etegekeddwa.
Abawagizi abaali batasalikako musale, abamu baawanika ebipande nga baagala abagagga bagende.
2018 Manu Solskjaer
Omutendesi wa ManU, Solskjaer aludde nga yeegomba okukansa Kane.
Mu kugezaako okuzza emitima gy’abawagizi, abakungu ba ManU balina essuubi nti bwe baleeta Kane, abawagizi baakukkakkana ku busungu bwe babalinako.
Agava mu Spurs gagamba nti omuteebi ono ayagala kugenda olwa ttiimu okulemwa okuwangula ebikopo.
Sizoni eno Spurs yakubiddwa ku luzannya lwa ttiimu 32 mu Europa sso nga ne Carabao Cup, Man City yabakubidde ku fayinolo.
Sizoni eno, Kane yaakateeba ggoolo 21 n’akolera banne asisiti 13 ekiwadde ManU essuubi nti bwe banaamukansa, alina kinene ky’ajja okwongera ku ttiimu yaabwe.
Ekimu ku bizibu abakungu ba ManU kye balumiriza okubalemesa ebikopo kwe kuba nga tebalina muteebi wa ntomo gwe basobola kusibirako lukoba.