Calvert Lewin y'abula mu ManU - Real Ferdinand

Rio Ferdinand, eyali ssita wa ManU agambye nti omuteebi Dominic Calvert-Lewin ajja kugasa nnyo ManU singa emukansa mu July.

Calvert Lewin y'abula mu ManU - Real Ferdinand
NewVision Reporter
@NewVision

Yamuwaanye nti, “Muteebi musuffu, assa abazibizi ku bunkenke, tatya ate kizibu okumuggyako omupiira.” Ferdinand eyali mu ManU ng’ekukumba ebikopo ku mulembe gwa Sir Alex Ferguson, yagasseeko nti, “Omuvubuka ow’emyaka 14 okuteeba ggoolo 17 mu ttiimu nga Everton, taba wa muzannyo. Oyo ManU n’emufuna gujabagira.”

Ferdinand, akubaganya ebirowoozo ku ttivvi, yagambye nti ng’anyumyamu ne Carlo Ancelotti, atendeka Everton, yassa Calvert-Lewin mu katiba kamu ne Fillipo Inzaghi, eyayitimukira mu AC Milan. “Omuteebi ow’ekika kino lwaki takolera ManU! Siyinza kukaka Solskjaer kumugula naye nze nga eyali bbaaka, mmulaba mw’abo abazibu ennyo okukuuma.”

Yagambye nti Harry Kane owa Spurs ne Erling Haaland basinga ku Calvert-Lewin kyokka ba bbeeyi nnyo (pawundi obukadde 150 buli omu) sso nga ye (Calvert-Lewin) wa layisi nga ne bw’agenda mu ManU ajja kwetaaya kuba abawagizi tebajja kumubanja bingi nga bwe bayinza okukola ku Hane oba Haaland nga baagala batuukane n’omusimbi ogubaguliddwa.