Aston Villa 0-2 Spurs
Omutendesi wa Tottenham (Spurs), Jose Mourinho agambye nti tamanyi bazannyi be kye baagala.
Spurs yawangudde Aston Villa (2-0) mu Premier Mourinho n’ategeeza nti abazannyi baafunye wiini lwa buswavu obungi bwe baatuukako nga Dinamo Zagreb eya Croatia ebaggye mu Europa.
Dinamo yakuba Spurs ggoolo 3-0 e Zagreb n’eyitamu okuzannya ‘quarter’ ku mugatte gwa ggoolo 3-2. Oluzannya olwasooka e London Spurs yaluwangula ggoolo 2-0.
“Enkovu za Dinamo zijja kutubeerako ebbanga lyonna. Abazannyi balina okusamba buli mupiira n’okwagala sso si kwerobozaamu gimu na gimu,” Mourinho, omu ku batendesi abasinga okuwangula ebikopo bwe yategeezezza.
Spurs yawezezza obubonero 46 ng’ebuzaayo 5 okutuuka Chelsea eri mu kifo ekyokuna, ekisalirwako abakiikirira Bungereza mu Champions League. Vinicius ne Harry Kane be baateebedde Spurs.
Omutendesi wa Aston Villa, Dean Smith yagambye nti abazannyi be bakyalemeddwa okugumira embeera ya kapiteeni waabwe, Jack Grealish obutabaawo. Aston Villa yawangula emipiira 11 ku 22 Grealish gye yalimu kyokka egobye 1 gwokka ku 7 gy’atabaddeewo.