Kane, eyateebye emu ku ggoolo nga Bungereza ewangula Albania ggoolo 2-0, yayimirizza eby’okuteesa ku by’okumwongera endagaano okutuusa ng’empaka za Euro ziwedde ekyayongedde okutiisa abawagizi ba ttiimu eno.
Kane bwe yali asanyukira ggoolo ya Premier gye buvuddeko.
Keane agamba nti Kane tagenda kuyamba Spurs kutuukiriza biruubirirwa byayo eby’okuwangula ebikopo. Nga bwe kibadde mu sizoni eziyise, ne mu eno, Spurs eyolekedde okuvaayo nga Terina kikopo kyonna ky’ewangudde.
Wiiki bbiri eziyise, yawanduse mu mpaka za Europa, mu Premier eri mu kyamukaaga ku bubonero 48, Everton yabawandula dda mu FA Cup era omukisa gwokka gwe basigazizza okufunayo ku kikopo gwa kuwangula Carabao Cup.
Kane (ku kkono) ne Raheem Sterling nga basanyukira ggoolo ku y’eggwanga nga bawangula Albania
Ku fayinolo, Spurs yaakuttunka ne Man City nga April 25 era omutendesi Jose Mourinho alina okulwana awangule ekikopo kino. Gye buvuddeko, Kane yali ayagala Bakama be bamwongere endagaano empya mu kiseera Spurs mwe yabeerera ku ffoomu kyokka bwe yavumbeera, eby’endagaano b’abimma amazzi.
ManU, Man City, Real Madrid, PSG zimu ku ttiimu ezaali zeegwanyiza Kane. Ku Ssande, Spurs egenda kukyalira Newcastle mu gwa Premier omupiira gwe beetaaga okuwangula bwe baba baakumalira mu bifo ebinaakiika mu mpaka za Bulaa (Europa ne Champions League).