PSG yeesimbye mu by’okukansa Harry Kane

OMUTENDESI wa PSG, Mauricio Pochettino akubidde eyali ssita we Harry Kane essimu n’amusaba amwegatteko.

PSG yeesimbye mu by’okukansa Harry Kane
NewVision Reporter
@NewVision

Kane, y’omu ku bazannyi abasinga okwokya mu Spurs mu kaseera kano kyokka ennyonta y’ebikopo emususseeko era aliko be yategeeza nti waakuwalirizibwa okuva mu Spurs singa tewangula bikopo.

Omungereza Kane yali mmundu mmenye mu Spurs ya Pochettino eyakubirwa ku fayinolo ya Champions League mu 2019 era bombi bandyagadde okuddamu okukola bombi.

Emikutu gy’amawulire egy’enjawulo okuli n’ogw TF1 gyafulumizza eggulire eriraga nga Kane bw’agenda okuva mu ttiimu kyokka bakama be baategeeza gye buvuddeko nti ttiimu yonna eyeegwanyiza omuzannyi ono erina okujja n’obukadde bwa pawundi 175.

PSG zino ssente ezisobola era eri ku muyiggo gwa muteebi mulala singa bassita baayo Neymar ne Kylian Mbappe banaagyabulira.

Endagaano z’abazannyi bombi ziggwaako mwaka gujja era waliwo okutya nti singa banaagenda, PSG yaakusigaza eddibu.

Liverpool ne Real Madrid zeegwanyiza Mbappe sso nga Barcelona eyagala kuzzaayo Neymar.

Sizoni eno, Kane y’akulembedde abateebi ba Premier ne ggoolo 19.

Login to begin your journey to our premium content