Ebyemizannyo

IUEA ne Victoria University battunka mu liigi ya yunivasite e Kabojja

VICTORIA University ekyazizza International University of East Africa (IUEA) n’obusungu bw’okugiremesa omupiira ababiri bano gwe baalina okuzannya mu nsiike eyasooka neguyiika lwa bacuba.

IUEA ne Victoria University battunka mu liigi ya yunivasite e Kabojja
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

Lwamukaaga mu Pepsi University League

Victoria University – IUEA, Kabojja

May 10, 2022 omupiira gwa Pepsi University League mu kibinja A wakati wa IUEA ne Victoria ku kisaawe e Kansanga tegwazannyibwa lwa IUEA kuleeta ttiimu ng’eriko abacuba 6 abataali ku kipande ky’abo abawandiisibwa okuzannya sizoni eno.

N’okutuuka leero akakiiko akwasisa empisa mu liigi eno tekavangayo kusalawo ku nsonga eno oba Victoria etaalina bacuba eweebwe obubonero oba omupiira guddibwemu.

Leero May 28, 2022 ttiimu zombi zisisinkanye ku kisaawe kya Islamic University in Uganda (IUIU) e Kabojja mu nsiike ey’okudding’ana wakati nga buli omu anoonya kabonero kasooka mu nsiike bbiri buli omu ze yaakazannya.

Arthur Mwozi  Owa Iuea

Arthur Mwozi Owa Iuea

Patrick Ssebuliba akulira eby’emizannyo ku Victoria University agamba nti omupiira ogutaazannyibwa gwabakola bubi era wano we baagala okusinziirira okubonerereza IUEA e Kabojja nga babasomesa nti mu mupiira gwa yunivasite temubeera bacuba.

“Ffenna tulina abayizi abaasukka emyaka gya yunivasite liigi era tetubazannyisa, naye ekikulu kya leero twagala bubonero busatu okutangaaza emikisa gy’okuva mu kibinja, emikisa egikivaamu tukyagirina ssinga tuwangula egisigaddeyo,” Ssebuliba bwe yategeezezza.

Arthur Mwozi atwala eby’emizannyo ku IUEA era maneja wa ttiimu agamba nti kati batunuulira biddako, tebatunula mabega. “Twetereezezza bulungi era twetegese okumeggera Victoria ewaayo okugikakasa nti n’ogwasooka twali tugisobola wadde beekwasa ne gutazannyibwa,” Mwozi bwe yategeezezza.

Ekibinja kino kikulembeddwa Kumi n’obubonero (7), UCU (4), Victoria ne IUEA tebalinaayo kabonero. 

Tags: