Ebyemizannyo

Rebecca Chelangat awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka za Islamic Solidarity Games egiyindira mu kibuga Riyadh Saudi Arabia.

Munnayuganda Rebecca Chelangat awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu ogwokusatu mu mpaka za Islamic Solidarity Games egiyindira mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia.

Rebecca Chelangati
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Emisinde
10,000m
1. Rebecca Chelangat (UGA) – Gold
2. Viola Motosio (QAT) – Silver
3. Samiya Hassan Nour (DJI) - Bronze
Munnayuganda Rebecca Chelangat awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu ogwokusatu mu mpaka za Islamic Solidarity Games egiyindira mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia.
Kino kiddiridde Chelangat okuwangula embiro eza mmita 10,000 ezabakyala mu kiro ekikeesezza olwaleero mu kisaawe kya Prince Faisal Bin Fahad Stadium.
Chelangat yaddukidde edakiika 32:11:42 naddirirwa Violah Motosio enzaalwa za Qatar eyaddukidde edakiika 32:13:59 ate Samiya Hassan Nour owa Djibouti namalira mu kifo ekyokusatu.

Rebecca Chelangati ne banne

Rebecca Chelangati ne banne


Guno gwemudaali gwa Uganda ogwomusanvu omugatte wabula nga gwegusoose mu misinde mu mizannyo gyomwaka guno.
Ye munnayuganda omulala Leonard Chemutai yasubiddwa omudaali mu mbiro ezokubuuka obusenge nga bwogwa mu mazzi eza mmita 3000 ziyite Steeple Chase.
Omukanyuzi wolunyago (Javelin) Josephine Joyce Lalam teyasobodde kumalako oluvannyuma lwokufuna obuvune mu viivi bweyabadde yaakatandika okukanyuga. 
Uganda ekomawo mu nsike olunaku olwaleero nga Abel Chebet agenda kuba adduka embiro eza mmita 10,000 mu basajja.
Omuzannyo gwekigwo ekizungu nagwo gwakubeerayo olwaleero.
Tags: