Ebyemizannyo

Kiraabu ya Kireka A yeetisse empaka za liigi y'eggwanga ey'omuzannyo gwa chess.

Kiraabu ya Kireka A yeetisse empaka za liigi y'eggwanga ey'omuzannyo gwa chess.

Kireka A ng'ewanise ekikopo
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Abawanguzi 
Omutendera gwa Classical
1. Kireka A
2. CAN
3. Kireka Panthers
Omutendera gwa Rapid
1. Kireka Panthers
2. Kireka A
3. CNA
Omutendera gwa Blitz
1. Kireka A
2. Gambit
3. CNA
Kiraabu ya Kireka A yeetisse empaka za liigi yeggwanga ey'omuzannyo gwa chess.
Kireka yalangiriddwa oluvannyuma lwokwekuumira ku ntikko mu mizannyo 12 egyazanyiddwa olunaku lweggulo ku SOM chess academy e Nsambya nga yakungaanyizza obubonero 33 neddirirwa CNA ku bubonero 21 ate Kireka Panthers nekwata ekifo kyakusatu ku bubonreo 26.
Guno gwabadde mulundi gwamunaana nga Kireka A ewangula liigi yeggwanga eyomuzannyo gwa chess nga yakitutte omulundi ogwokusatu ogwomuddiringanwa.
Omutendedsi wa tiimu ya Uganda eya chess Harold Wanyama yatenderezza omutindo ogwaayoleseddwa bamusaayimuto abeetabye mu zomwaka guno gwagambye nti gweyongedde okulinnya bwogerageranya nezibaddewo emyaka egiyise.
President wekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu Uganda Emanuel Mwaka yayogedde ku liigi ya Uganda nga ekyasinze obunene mu Africa olwokuvuganya okugirimu. 


Wabula Mwaka kino yakitadde ku nsimbi ezaabaweebwa kkampuni ya premier Bet abavujjirira liigi eno ezongedde okuleetawo okuvuganya.
Kireka A era yeetisse ezomutendera gwa Blitz ate Kireka panthers neyeddiza eza Rapid.
Liigi yomwaka guno emaze emyezi 4 nga etojjera nga yeetabiddwamu tiimu 34 okwabadde tiimu bbiri ezaavudde ebweru weggwanga.
Tiimu engwiira kwabaddeko Gambi eya south sudan nga eno yamalidde mu kifo kyamusanvu ate western express okuva e kenya yamalidde mu kifo kyamukaaga. 
Abawanguzi baweereddwa ensimbi enkalu, emidaali nebikopo ate nga bbo aba Kireka A baakwasiddwa kavvu wa bukadde 10.
Abamu ku bamusaayi muto abeetabye mu mpaka zino baazikozesezza okwetegekera empaka za Africa youth chess championships ezigenda okubeera mu kibuga Harare ekya Zimbabwe ku ntandikwa yomwezi ogujja.
Tags: