Emisinde 10,000m (Basajja)
1. Birhanu Balew (BAH) Gold
2. Samuel Simba Cherop (UGA) Silver
3. Abel Chebet (UGA) Bronze
Mu kiro ekikeesezza olwa leero Uganda eyongedde ku muwendo gw’emidaali gyeyakawangula mu mizannyo gya Islamic Solidarity games egigenda mu maaso mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia.
Wetutuukidde olwa leero nga Uganda ewezezza emidaali Mwenda oluvannyuma lwabaddusi Samuel Simba Cherop ne Abel Chebet okumalira mu kifo ekyokubiri ne kyokusatu mu mbiro eza mmita 10,000 mu basajja.

Bannayuganda nga bakutte Flag
Emisinde gino gyawanguddwa munannsi wa Bahrain Birhanu Balew eyaddukidde edakiika 29.06.58 naddirirwa munnayuganda Samuel simba Cherop kumpi abaddukidde mu budde bwebumu.
Munnayuganda abel chebet yamalidde mu kifo kyakusatu nawangula omudaali ogwekikomo.
Wabula Cherop yeekubidde enduulu mu bategesi bempaka nga alumiriza Balew okumwekiika bweyabadde agezaako okumuyisa nga batuuka ku kaguwa.
Wetukoledde eggulire lino nga abategesi bempaka tebanavaayo kuwa kyankomeredde.
Uganda ekomawo mu nsiike akawungeezi ka leero nga Tom Draliga agenda kudduka mu mbiro ezaakamalirizo eza mmita 1500 mu basajja.

Bannayuganda abeetabye mu mizannyo
Mu bakyala Halima Nakaayi agenda kudduka mmita 800 ate Charity Cherop ne Cherop Risper beetabe muza mmita 5000.
Mu kigwo ekizungu (wrestling) Veronica Ayo agenda kuttunka ne Sezim Zhumanazarova enzaalwa ze Kyrgyz.
Omusituzi wobuzito owabaliko obulemu Dennis Mbaziira ajja kuba mu nsiike ku lwokutaano lwa wiiki eno.