Ekibiina ekigatta obukiiko bwemizanyo gya olympics mu africa ekya ANOCA kisiimye ssaabawandiisi wa Uganda Olympic Committee (UOC) Beatrice Ayikoru.
Ayikoru asiimiddwa nga omu ku bakyala abali mu bukulembeze bwemizannyo mu africa abasinga okulwanirira omwenkanonkano nokuwa abakyala omwaganya mu buweereza bwemizannyo mu africa.
Ayikoru yasiimiddwa nabakyala abalala bataano okuli: Lydia Nsekera, minisita w'ebyemizannyo e Burundi; Bouchra Hajij, President wa Africa Volleyball; Filomena Fortes, president wa Olympic Committee ye cape verde; Aica Gerad Ali, President wa olympic committee ye Djibouti nomumyukawe Fardouza Moussa.
Bano baasiimiddwa mu lukungaana olw'okubiri olwa ANOCA olwatudde mu kibuga Bujumbura, ekya Burundi nekigendererwa ekyokutumbuula obukulembeze bwabakyala mu byemizannyo ku lukalu lwa africa.
President wa UOC Dr. Donald Rukare yeyakwasizza Ayikoru ekirabo ku lwa president wa ANOCA Mustapha Berraf. Rukare yatenderezza Ayikoru olwokuyimirira nga omukyala nalwanirira obwenkanya mu bifo ebyobuweereza ebyenkizo ekyongedde okusikiriza abakyala abalala okwettanira obuweereza mu byemizannyo.

Beatrice Ayikoru