Uganda etaamye, yaakakungaanya emidaali 12 mu mizannyo gya Islamic Solidarity Games e Saudi Arabia
Nga esigadde mbale emizannyo gya Islamic Solidarity Games okukomekkerezebwa mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia, Uganda eyongedde okukumba emidaali mu mpaka ezo.
Mu kiro ekikeesezza olwalero Uganda ewezezza emidaali 12 gyeyaakakunganya mu mpaka ezo oluvannyuma lwabaddusi Halima Nakaayi (800m), Charity Cherop (5000m) ne Leni Shida (200m) okukola obulungi mu misinde.
Nakaayi yamalidde mu kifo kyakubiri mu mbiro eza mmita 800 nawangula omudaali ogwa Feeza . Cherop naye yawangudde Feeza mu mbiro eza mmita 5000 ate ye Leni nawangula omudaali ogwekikomo oluvannyuma lwokumalira mu kifo ekyokusatu mu mpaka ezakafubutuko eza mmita 200.
Gino emidaali gyegasse ku gya Samuel Simba (Feeza) ne Abel Chebet (Kikomo) mu mbiro eza mmita 10,000 egyawanguddwa olunaku lweggulo.

Bannayuganda nga bakutte emidaali