Everton yeenyize mu ttiimu eziyaayaanira Aguero

EVERTON y’emu ku ttiimu ezeesowoddeyo okwefunira Sergio Aguero ku bwereere. Aguero, muteebi wa Man City wabula endagaano ye, eggwaako sizoni eno.

Everton yeenyize mu ttiimu eziyaayaanira Aguero
NewVision Reporter
@NewVision
#Everton #Sergio Aguero #Man City #Community Shield #FA #Carlo Ancelotti #League Cup

Aguero, yeegatta ku Man City mu 2011, nga yaakagiteebera omugatte gwa ggoolo 258 mu mipiira egy’enjawulo. Ebikopo, awangudde ebiwera kuba ebya Premier yaakawanguliramu 4 ate ebya League Cup 6 kwossa ebya FA ne Community Shield. Emyaka gy’amaze mu Man City, y’omu ku bazannyi ababadde empagiruwaga ya ttiimu.Augero

Augero

Ali ku mulyango ogumufulumya Man City wabula ttiimu ez’enjawulo zimuswamye. Ku zino kuliko; Chelsea, Tottenham, Inter Milan ne Leeds.

Kyokka emu ku ggoolo gye yateebedde nga Man City emegga Crystal Palace (2-0) ku Lwomukaaga, ewadde Everton ekinyegenyege nayo okwagala okumukansa.

Everton ng’eri wansi w’omutendesi  Carlo Ancelotti egamba nti yo nneetegefu okumuwa ensimbi ezisingawo, ez’okukkirizza okussa omukono ku ndagaano gye banaaba bamuwa.

Kino ekikola okumusikiriza. Kyokka ensonda ezimu zigamba nti Aguero, ye ayagala kwegatta ku PSG eya Bufalansa.