Woodward, mu kiseera kino eyalekulidde ekifo kye mu ManU, abazannyi ba ManU bamuvumiridde nga bagamba nti ayinza atya okuwagira ekintu ekigenderera okusaanyaawo omupiira n’okugoba abawagizi mu kisaawe.
Maguire yakalidde mu Ed Woodward olw’okuleeta European Super League. Wano Maguire yali ayogera ne Jordan Pickford (ku kkono) owa Everton.
Maguire, yali mu lukiiko Woodward mwe yabasisinkanira ku Ssande akawungeezi era omukungu ono olwamala okutegeeza abazannyi ku liigi empya eya European Super League, kapiteeni ono n’amwang’anga ng’agamba nti babigaanyi.
Maguire yalumiriza Woodward okwerowoozaako yekka n’abagagga bafune ssente olwo omupiira baguleke mu katyabaga. Kino kyaleseewo oluwonko wakati w’abazannyi n’abakulira ManU era gye byaggweeredde nga Woodward alekulidde.
Maguire yakalidde mu Ed Woodward olw’okuleeta European Super League. Wano Maguire yali ayogera ne Jordan Pickford (ku kkono) owa Everton.
Ng’amawulire ga liigi eno gongedde okusaanikira ensi, ate ttiimu za Bungereza omukaaga ezaasoose okutegeeza ng abwe zigenda okugyetabamu, zaagyabulidde ekyamazeemu abaabadde basaasaanya enjiri yaayo amaanyi.
Arsenal, ManU, Man City, Chelsea, Spurs ne Liverpool zonna zaabadde zikkiriza okwetaba mu liigi eno kyokka oluvannyuma ne zigyekuba.