Omubrazil ono abawagizi bangi baamulinamu essuubi ery’okusitula ttiimu mu sizoni ye eyasooka kyokka arteta bwe yajja, n’amukuba akatebe mu sizoni eyo, omuzannyi ono yateeba ggoolo 10 mu mipiira 26 mu mpaka zonna abawagizi ne bamukooneramu.
Gabriel Martinelli
Martinelli yatandise omupiira gwa fulham bwe baabadde bagwa amaliri ggoolo 1-1 kyokka arteta agamba nti ekintu ekikulu ekijja okusitula omuteebi ono kwe kukkakkana n’awuliriza abatendesi bye bamugamba.
Mikel Arteta omutendesi wa Arsenal
Martinelli asobola okuzannya ku kyoto wakati ku wingi eya kkono ssaako eya ddyo ekimuwa enkizo. pierre aubameyang ne alexander lacazette be bazannyi abasinze okusiikiriza martinelli kuba be batandise emipiira gya arsenal egisinga.
Mu kiseera kino, Arsenal ya mwenda ku bubonero 46 nga ku Lwokutaano yaakwambalagana ne everton mu mupiira gwe yeetaaga okuwangula bw’eba yaakwongera kusenvula mu bifo by’oku mwanjo.
Gabriel Martinelli