Emery yakola nsobi okutunda Iwobi – Kanu

EYALI ssita wa Arsenal, Nwankwo Kanu agugumbudde eyali omutendesi wa ttiimu eyo, Unai Emery olw’okutunda Alex Iwobi mu Everton.

Iwobi ng’akyali mu Arsenal.
NewVision Reporter
@NewVision
#Arsenal #Kanu #Iwobi #Unai Emery

Kanu, omu ku baali mu Arsenal ya 2002-2003 eyawangula ekikopo nga tekubiddwaamu agamba nti Emery okutunda Munigeria munne Iwobi kyali kibi era singa akyaliwo, Arsenal yandibadde ya njawulo nnyo.

Arsenal yaamwenda ku bubonero 46 mu mipiira 32 mu kiseera kino kyokka abaagizannyirako bagamba nti yandibadde eri waggulu.

“Otunda otya Iwobi ate n’ogula Nicholas Pepe ate ku ssente ennyingi ng’ezo,” Kanu bw’agamba.

Ayongerako nti, “Kyanneewuunyisa kuba Iwobi yali amaze emyaka 10 mu Arsenal ate nga muzannyi awa essuubi era okumutunda kyali kikyamu.”

Kanu

Kanu

Kanu eyali omuzannyi wa Arsenal ng’enzaalwa ya Nigeria.

Omuzannyi ono baamutunda obukadde bwa pawundi 30 mu 2019 nga yagenda okuvaawo ng’ateebedde Arsenal ggoolo 15 mu mipiira 149.

Ku Lwokutaano, Arsenal yaakwambalagana ne Everton mu gwa Premier mu kaweefube waabwe okulaba nga bamalira mu bifo by’oku mwanjo.

Wiiki ejja ku Lwokuna, bano baakukyalira Villarreal mu gw’oluzannya olusooka olwa semi ya Europa League.