Omwana bw'azannya n'omuzadde kimuyamba okukula obwongo

Bya Musasi wa BukeddeOmwana okuzannya nga muto kikulu kubanga kimuyamba omubiri okuba omulamu obulungi ng’ebinywa n’amagumba bikola bulungi n’obwongo bwe okukola obulungi. Abazadde abasinga balowooza nti omwana alina kuzannya na bato banne bokka. Kino si bwe kirina okuba. Omwana alina bingi byafuna ku muzadde nga bazannye bombi ne bimuyamba mu bulamubwe obw’omu maaso.Bangi balowooza omwana bwamuwa buli kye yeetaaga okuzannyisa nga eggaali, omupiira, emmotoka, ddole n’ebirala aba akoze kinene. Kino si bwe kiri.

Omuzadde ng'abuuka n'abaana.
By Nambatya Miriam
Journalists @New Vision
#Kuzannya #omwana #muzadde

Bya Musasi wa Bukedde

Omwana okuzannya nga muto kikulu kubanga kimuyamba omubiri okuba omulamu obulungi ng’ebinywa n’amagumba bikola bulungi n’obwongo bwe okukola obulungi.

Abazadde abasinga balowooza nti omwana alina kuzannya na bato banne bokka. Kino si bwe kirina okuba. Omwana alina bingi byafuna ku muzadde nga bazannye bombi ne bimuyamba mu bulamubwe obw’omu maaso.

Kubuuka N'omwana

Kubuuka N'omwana

Omusajja ng'azannya n'omwana.

Bangi balowooza omwana bwamuwa buli kye yeetaaga okuzannyisa nga eggaali, omupiira, emmotoka, ddole n’ebirala aba akoze kinene. Kino si bwe kiri.

Omuzadde okuzannya n’omwana kiyamba nnyo okukwatagana obulungi. Kiyamba omwana okugwamu ekiwuggwe nakweyabiza. Kiba kyangu okumuwabula ku nsonga ez’enjawulo kubanga buli kimu akikugamba.

Okuzannya kuyamba okugwaamu okutya okwogera n’abantu abakuku. Kale ne bw’aba muntu mulala amutegeeza ky’aba ayagala kubanga yamanyiira.

Mu kiseera nga muzannya oyinza okubaako by’omusomesa nga amannya g’ebintu nga ekika ky’emmotoka n’ebirala n’engeri gy’alina okweyisaamu ng’azannya. Okugeza omuwala omulabula ku kusitama n’alaga empale ye. Omulaga nga bwe kiri ekyobulabe.

Mu kuzannya n’omwana naawe omuzadde obaako ky’oyiga ku mwana. Olw’okuba oli naye oyinza okulaba ekimuli ku mubiri n’omuyamba. Okugeza kyangu okulaba ng’awenyera.

Mu kuzannya omwana kimuyamba okutandika okukwesiga era n’akutegeeza kuli kimukwatako. Mu mbeera eno buli kyakuyamba omuyamba ate weewale okumala googera buli kyabakugambye kubanga ate ayinza okukugyamu obwesige.

Omwana bw’omuwa obudde alaba nti omufaako era omwagala. Kimuwa essanyu buli kimu ne kimutambulira bulungi nga teyeekubagiza kuba amanyi bamwagala.