ERIISO kitundu ky’omubiri eky’omugaso ennyo, kubanga kye kituyamba okulaba, ne tukola okusalawo nga twerabiddeko.
Wabula wakati mu kukola, n’okuzannya, amaaso gasobola okugendamu enfuufu ey’ebika eby’enjawulo n’ofuna okutaataaganyizibwa.
Singa tewerwanako n’ogajjanjaba nga bukyali, era mu ngeri entuufu, gasobola okufuna obuvune obuyinza okukutwalako ssente ennyingi, oba obw’olubeerera nga tebulivaawo.
Okusinziira ku mukutu gwa https://www.moh.gov.sa/en enfuufu bw’ekugenda mu maaso, owulirirawo obubonero, era kyangu okwejjanjaba ng’embeera tennasajjuka.
Obumu ku bubonero buno kuliko okuwulira obulumi, okuwulira ekintu ekikusala mu liiso, singa ogakunya, ofuna ekifu nga tokyalaba bulungi, okuvaamu amaziga, okukulumya omutwe, n’obutasobola kutunula bulungi mu kitangaala. Bw’otuuka mu mbeera eno, naaba amaaso n’amazzi amayonjo.
Okutemereza emirundi egiwerako, kiyamba enfuufu eri mu maaso n’obuyinjayinja obutono okuvaamu.
Togezaako kukunya liiso, oba okugezaako okuggyamu ettaka eriba liguddemu kubanga kino kiyinza okuleetera eriiso lyo obuvune.Togezaako kwambala gaalubindi mu kiseera ng’eriiso terinnawona kubanga zisobola okutta amaaso go. Singa obuzibu bweyongera, fuba okulaba ng’olaba omusawo w’amaaso omukugu akuwe obujjanjabi obusingako.