BULI musajja anyumirwa okubeera mu kazannyo n’awangaaliramu ate ng’aguzannye bulungi munne n’amatira.
Wabula olw’ebizibu eby’enjawulo, ennaku zino abasajja bafuna okukaluubirizibwa mu mbeera y’abakulu.
Abamu bwe kituuka ku ky’okuwangaala bakaluubirizibwa, abalala bw’agenda ogusooka ogwokubiri bibeera bya ‘mukama n’ayamba’. Kyokka ate ekisinga okuluma kwe kwerwanako n’owanga ate obeera k’ojje otandike olugendo nga ye mutaka akugamba abikooye n’owulira ng’ofa obusungu.
Mu mbeera eno, abasajja basazeewo okwerwanako anti atalina mukamwana yeekamwana yekka. Bayiiyizza engeri gye basobola okwanganga amangu n’okulwa mu kisaawe.
Irweny owa Naturals atunda ebintu abasajja bye bakozesa mu mbeera y’okwerwanako aliko eby'enjawulo byamenye n’engeri abasajja gye babyeyambisaamu ennaku zino okuwangaalira mu kazannyo.
Alaga Ebikozesebwa Mu Kisenge.
1. Waliwo sipule efuuyirwa ku busajja (Viagra /Dick Spray); Sipule eno ogifuuyira ku busajja era osooka kukakasa nti waliwo omuntu gw’ogenda okuzannya naye akazannyo eno ekuyamba okuwangaalira mu kisaawe n’ogenda luutu eziwera nga togudde.
Eno ekola omulimu gwe gumu n’ogw’empeke za Viagra nazo eziyamba mu kukuuma omusajja nga yeesimbye busimbalaala ebbanga eddene n’okuyungirawo awatali kuwummulamu.
Empingu y’amapenzi (Romantic handcuffs); Oyinza okwewuunya empingu eno ky’ekuyamba, kuba kwongera bunyuvu mu muzannyo.
Mu mbeera eno okwata emikono gy’omukazi n’ogisibira emabega olwo n’otandika okumunoonya nga bw’anyumirwa kyokka nga ye tasobola kukukwatako okuggyako okukutunuulira.
Olw’okuba obeera osobola okukwata ku buli kitundu kye nga bw’oyagala gwe omusajja oyaka mangu ate ne mu kisaawe owangaaliramu ebbanga.
Ne bwekuba kuddamu kuyunga ng’ogudde kyanguwa olw’ensonga omusajja osobola okuzannya n’ebitundu by’omubiri gwa munno mu ngeri emukookoonya. Wabula okunyumirwa kirungi n’otopapa kuyingira n’osooka ofumba ekijjulo kyo ne kiboobera.
3. Amatatu g’akaboozi /g’ekisenge. (Sex cards/Bedroom cards); Abantu abamu bayitira mu kuzannya amatatu g’omukwano. Mu mbeera eno ng’oli n’omwagalwawo muzannya matatu ng’aga bulijjo wabula gano eky'enjawulo ewabeera nti kitiiyo oba kamuli kubaako bigambo bya mukwano oba bya kaboozi era galiko akakwakkulizo nti abagazannya balina okuba nga baagalana.
Ebigambo ebibaako bwe muba muzannya amazeemu akagoba ekigambo ekiba ku kaadi ye kye mukola okugeza, asooka bw’aba amazeemu nga kuliko okweyambula nga mukikola.
Owookubiri bwe gakulagira okwerera nga mukikola mugenda okumalamu obuzannyo buna ng’embeera yammwe eba yacamuse dda, buli omu ayoya munne ku mutakulako awamusiiwa.
4 Obutabo bw’omukwano/Romantic Novels; Abaasomako nabo waliwo akakodyo k’obutabo nga muno mubeeramu ebisomwa nga byogera ku laavu. Engeri gyekiri nti akaboozi katandikira mu bwongo buli lw’okalowoozaako ng’omubiri gusumulukuka.
Kati kubamu akafaananyi ng’osoma ku mukwano n’ebikolwa byagwo nga muli n’omuntu gw’oyagala! Okuggyako ng’ebibyo byagaanira ddala, toyinza butasituka kunyenyaamu ku galiba enjole.
Ekinaabiro Ekitegekeddwa Mu Ngeri Esikiriza.
Mu kusoma obutabo buno bwemubaako we musoma nga waliwo eky’okuyiga kye mubadde temumanyi awo wennyini we mutandikira okukigezaako.
5 Obumpwakimpwaki (Cookies); Zino nazo zaakula nga zaabulijjo kyokka zirimu ekirungo ekikussa mu mbeera. Bw’oba oziridde za maanyi nnyo nti ogenda okumalawo ekitundu kyayo ng’oyimba abaafa baapapa. Era zino abaana abawala bw’aba yayagadde okwesanyusa n’omulenz,i ng’omulenzi agaanyi okuva gy’ali bamanyi okuzitega abalenzi anti oluba okugisuula mu ttama ng’atandikirawo okuyoya olusozi gambalagala
6. Firimu z’omukwano (Romantic Movies.);
Omuntu alina DVD awaka ne ttivvi oba essimu mazima ddala ogamba otya nti olemeddwa okuyunga? Ssinga obeera ne munno ng’owulira omutima gwagala naye ng’omubiri gugaanyi, waliwo buffirimu bw’osobola okwekwata ne mubulaba naye era bwe muba mubulaba, ogenda okulaba munno abadde atudde ewala, ng’asembera mpola wooli, okukkakkana nga naawe emikono gitandise okutambula mu ngeri gy’obadde teweetegekedde.
Wayitawo akaseera katono ffirimu gye mubaddeko nga mulaba n’etandika okubalaba, okukkakkana nga mwezannyeemu ffirimu.
7 Akakodyo k’amazina g’okusoomooza oba okukookoonya (stripping/Pole dancing/ teasing.); Ekituufu okiraba ng’ekizibu okugula payipu kwe muzinira amazina gano naye kyoba omanya abaana batadde ssente mu kazannyo.
Gano gabeera mazina naye nga ga kookoonyo naye bagazinira ku nkondo mu kisenge. Waliwo payipu ze bateeka mu bisenge byabwe kye bakola nga bateeka myuziki mu kisenge kati omuwala azina bwe yeekwatako nga bw’akulaga ku kyensuti obudde ne budda ku bunnaabwo, era obuswandi bwe bumulinnya ogenda okuwulira ng’ayimba lwa Dr. Hilderman olwa ‘..munda eri..’
Akatabo Akayigiriza Ensonga Z'omu Kisenge.
Akatabo Akayigiriza Ensonga Z'omu Kisenge.
8 Abamu batadde obusenge bwa masaagi awaka (massage room); Kano kabeera kasenge ka njawulo omuntu k’asobola okussa awaka era abasajja abamu bakakozesa ennaku zino.
Gwe weebuuze lwaki obeera otudde mu ssaaluuni omwana n’akukola ku mutwe wokka ne mu kifuba omukulu wansi n’ayagala okukwewaggulako kyokka ng’awaka obeera balina kukusindika busindisi.
Kati abasajja obusenge buno babuzzizza waka ng’alinawo akasenge ak’enjawulo mwe bayingira ne munne okwekolako nga n’ebikozesebwa gyebiri era kkiriza oba gaana bwe bakola masaagi ate era bamala ne bakola masaagi.