Bya John Bosco Kiyingi
OKUSANYUKA, okwebuulirira n’okukkakkana mu birowoozo bye bisuubirwa okubeera mu ssinzizo. Era bino byonna awamu birina okutuusa omuntu okusembeza omwoyo gwe ne mu mbeera ze ezaabulijjo okumpi ne Katonda.
Wadde kino bwe kisuubirwa okuba, kyokka amasinzizo mangi bw’ogatuukamu entendereza gy’osangayo ya ngeri nga siiti era osoberwa.
Ebigenda mu maaso mu kkanisa ya ‘End of Time Church Blinks’ e Ghana ebikolebwayo bifaananira ddala erinnya lyayo nti, enkomerero enaatera okutuuka.
Ebyewuunyisa
Obutambi obusasaana ku yintaneeti, buleka abantu bangi nga basamaaliridde.
Enjigiriza y’enjiri mu kkanisa eno eyongedde okutabula entaputa y’enjiri ya Kristo ne bagiseeseetula mu kitiibwa kyayo kwe yazimbirwa.
Ng’oggyeeko edda ng’enjiri ya Kristo esomesebwa abo abasoose okutendekebwa ne bakkirizibwa okugenda mu maaso n’okugiriisa abalala, era nga kye bayigiriza tekiyisibwamu lugaayu, ennaku zino mu nsi yonna buli muntu asobola okubeera paasita kasita abeera n’obusobozi okufuna ekifo n’akola ekkanisa ne yeewa ebitiibwa kyonna ky’aba ayagadde okuva ku paasita okutuuka ku bisopu.
Mu katambi k’ekkanisa ya End of Times Church Blinks, kalaga omuwala alina ffiga ng’abambadde bikini, engatto n’embira mu kiwato ng’awa obujulizi ku ngeri omusumba we yeeyita bisopu Mensah Mark oluusi ng’akozesa n’erya Pastor Blinks ow’ekkanisa ya End of Time Church Blinks e Ghana nga bw’ali ow’ebyamagero.
Mensah Mark Ayitibwa Pastor Blinks Yoono
Mu katambi kano omuwala ajja ku siteegi mu bikini n’ategeeza nti, paasita Blinks yamusabidde n’afuna ddiiru y’okwolesa emisono mu kkampuni enguundiivu.
Omusumba naye mu ngeri ey’okwewuunya olw’ekyamagero kino, agenda mu maaso okumulagira yeetoololemu (amodolemu) okulaga ku bagoberezi banne ky’alinawo era ekyamuweesezza omulimu gw’okwolesa emisono kyokka ebya ddiiru yonna tabirambulula.
Omuwala owookubiri, naye ajja n’alinnya ku kituuti kyokka ye ng’ayambadde.
Alombojja ebizibu bye okuli amakaage okubeera nga gayuuga era asaba omusumba amusabire asobole okussa bba mu ccupa.
Omusumba amulagula nti, omukwano gw’alimu ne bba embeera eyo tegenda kukyukako ne bw’anaamusabira omukisa okuggyako ng’ekimu ku bintu by’ayambadde ku mubiri gwe akyeyambudde.
Yamutegeezezza nti, embira z’alina mu kiwato kuliko ekika kya langi ky’alina okuggyako olwo buli kimu kitereere.
Omukazi ono mu kusoberwa, atunula ng’atangadde ku langi evuddeko obufumbo bwe okuyuuga. Paasita amutegeeza nti, embira eza langi eya bbulu ye kanaaluzaala w’ebizibu byonna ebiri mu makaage. Okukkaatiriza obwannabbi bwe, amubuuza oba ddala mu mbira z’alina mu kiwato tekuli za langi ya bbulu - n’amwanukula nti, paasita kituufu nzirina.
Kino omusumba yandikitegedde atya ataabaddeyo ng’omuwala ono ayambala okugenda mu kusaba!
Amulagira bamufunire leesu yeeyambule n’embira aziggyemu era ne bakikola ne yeeyambula ne baggyako embira eza langi eya bbulu.
Teweewuunya by’osoma kubanga omusumba y’omu ono (Blinks) lumu yamwa abakazi mu mbugo nga bali bwereere mu kkanisa ye ku kituuti.
Yategeeza nti, kino okukikola yasooka kufuna bubaka okuva ewa Katonda eyamulagira okugenda ku lusozi olumu okumala ennaku ttaano, era ku lunaku Olwokutaano kwe yafunira obubaka obumulagira okumwa abakazi.
Bwe yabuuzibwa oba tekyamukwasa nsonyi okutunula ku nsonyi z’abakazi abatali bakyala be yategeeza nti, mu kiseera ekyo ng’abamwa amaaso ge Katonda yali agataddeko ekifu nga talina kintu kyonna ky’alaba.
Naye nga bamutaddeko akazito, era nga waliwo ebibiina ebisaba akwatibwe avunaanibwe, yakyusa sitatimenti n’ategeeza nti, akatambi ako kaali katuufu wabula kaali kakwatiddwa okukeeyambisa okuzannya ffirimu y’okulaga abasumba boobulimba naye byonna ebyalimu tebyali mu kkanisa ye wabula byakolebwa mu kifo kirala gye bazannyira ffirimu
Ye musajja y’omu asiiga abakazi amafuta nti, gabagobako ebisiraani era nga na bino byonna abikolera ku kituuti emisana ttuku! Afuna ebbaafu ennene, omukazi olumala okweyambula mw’atuula emikolo ne gigenda mu maaso. Kyokka wadde ye ayambula banne, ye teyeeyambula era akuba amasuuti gali ge boogerako agaliko.
Blinks ebikuuno bye bino abikola ku bakazi kubanga teri musajja yali alabikidde mu katambi konna ng’amuwa omukisa ng’ali mu kawale ke kokka era byonna ebireka ensi ng’eyanaamiridde bikolebwa ku bakazi bokka.
Rev. Junior Mccormick Mu Kkanisa Ya Church Of The Lord Jesus Christ E Kingston, Georgia Mu America.
EKKANISA ENDALA EZ’EMISOTA
Ate mu ssaza lya Tennessee mu America y’ensibuko y’ekkanisa gye bagatta Kristo n’emisota nga babisinziza wamu! Ekitabo bakozesa bayibuli okuliisa endiga ekigambo kya Kristo n’emisota.
Mu nzikiriza eno, bagamba nti, omuntu nga mutukuvu asobolera ddala okuzannyisa omusota mu kkanisa n’okunywa obutwa n’atabaako kintu kyonna kimutuukako.
Wabula gibabojja ne bafiira wakati mu kusinza naye abalala basimattuka.
Era olw’enzikiriza eno, amasaza mangi mu America gakoze amateeka agalungamya abantu ku ngeri gye balina okukwatamu emisota n’okusingira ddala egyo egy’obusagwa obungi.
Abagatta Kristu ku misota bagamba nti obuyinza babuggya mu bayibuli mu bitabo ekya Lukka 10:19, Makko 16:17–18 ne mu Bikolwa by’Abatume 28:1–6 awagamba nti, Paul (omutume wa Kristo) bwe yalumibwa omusota talina kabi konna kaamutuukako.
Ekkanisa zino ezaakazibwako erya ‘snake-handling churches’ olw’okuba zirina amannya ganjawulo era nga buli musumba yeetengeredde zisoba mu 250o mu America yonna.
Omu kubatandisi b’enzikiriza eno George Went Hensley naye kennyini yafiira ku kituuti ng’azannyisa omusota gumulume okulaga abagoberizi nti, atuukiridde.