Omu ku basomesa b'abaana abayingira nassale, Florence Ashabe alaze engeri abasomesa gye balina okukwatamu omwana atandika nassale.
Omwana mulage eby'okuzannyisa mu ssomero eryo mw'oyagala agende.
Tandika okulaga omwana banne abasoma bw’oba okimanyi nti omwaka oguddako agenda ku ssomero. Mugambe nti naye ajja kubeera nga bo.
Tega pulogulaamu z’abaana abato ku ttivvi muzirabe mwembi alabe bato banne bwe babeera ku ssomero.
Tandika okumulaga abaana abalala abagenda ku ssomero.
Omuzadde lambula essomero mw’oyagala omwana wo atandikire okusoma. Kikole n’omwana oyo agenda okutandika okusoma.
Bw’amala okulaba ebiri ku ssomero nga eby’okuzanyisa , mutegeeze nti kati mugenda kusoma era awo w’agenda okusomeranga. Kijja kumusanyusa kubanga abaana baagala nnyo okuzannya.
Yunifoomu gigulire mu budde omwana aleme kutandikira mu ngoye za bulijjo z’amanyidde nakyo kiyambako omwana okusanyukira essomero.
Olunaku olusooka weeretere omwana wo ku ssomero ofune omukisa ogutuulako naye mu kibiina kimugumye kubanga abaana abalala mu kibiina aba tannabamanyiira.