Ebintu 10 by'olina okwemanyiiza ogobe endwadde mu 2023

MU KISEERA kino endwadde nnyingi ezisiigibwa n’ezitasiigibwa ezongedde okubalukawo era abasawo bakirambika bulungi eri Bannayuganda okuzeerinda.

Ebintu 10 by'olina okwemanyiiza ogobe endwadde mu 2023
By DEOGRATIUS KIWANUKA
Journalists @New Vision
#Asiika obulamu #Emboozi #Endwadde #Dduyiro

Ebimu ku bintu by’oba weemanyiiza mu mwaka 2023 omuggya ogobe endwadde bye bino ; 

 Ezitasaasaanyizibwa ekisinze okuzirinnyisa kwe kuba nti abantu balemereddwa okuliisa emibiri gyabwe mu ngeri esaanidde ne bettanira emmere ensiike, ey’omu mikebe, ebyokunywa ebipakire n’ebirala bye balowooza nti biraga ensimbi.

Amenvu olina okugemanyiiza.

Amenvu olina okugemanyiiza.

Naye bw’oba osazeewo okubeera n’omubiri omulamu mu 2023, waliwo ebintu eby’enjawulo by’olina okwesibako ssinga oyagala okubeera omulamu obulungi.vDr. Joseph Lusiba okuva ku ddwaliro e Mulago akulaga engeri gy’osaanye okulya mu mwaka guno omujja osobole okwegobako endwadde enkambwe.

1 Olunaku lutandike n’ekyenkya ekizito. Mu kiseera kino, oyinza okulya emmere erimu ebiwuzi n’eyakakuta omuli ennaanansi, amenvu, emiyembe, enva endiirwa, obusera, obuugi bwa kasooli, n’ebirala. Okukkuta obulungi, oyinza okuliirako amagi kuba emmere eno yonna erimu ebirungo ebigonza olubuto ekikusobozesa okufuluma obulungi.

2 Dduyiro; Okukola dduyiro mu mwaka omuggya kitwale ng’akalombolombo kuba kimu ku bikuyamba okukuuma obulamu bwo nga bweyagala okumalako omwaka. Oyinza okutambulako mu budde obuweweevu naddala kumakya oba akawungeezi, okuzannya omupiira, okuvuga akagaali, okuwuga n’ebirala bingi.

3 Weewale okwerumya enjala kubanga kiremesa omubiri okufuna ebiriisa bye gwetaaga ekiyinza okukulwaza naddala alusa.

Dr. Joseph Lusiba.

Dr. Joseph Lusiba.

4 Weewale okulya emmere ennyikiddwa mu butto naddala ebiterekebwa okumala ekiseera ekinene kuba tebiriimu biriisa bigasa mubiri ate nga butto agibeeramu, omunnyo, ssukaali n’ebirungo ebimu bwe birwawo bifuuka butwa ekiyinza okukulwaza.

Obumpwankimpwanki. Weewale okulya obumpwakimpwaki mu ssaawa z’olina okuliiramu ekijjulo. Naye bw’obyoya mu ssaawa z’ekisalabudde, oyinza okulya ku bibala kuba birimu ebiriisa ebigasa omubiri gwo.

Okunywa ennyo: Abantu abamu tebaagala kunywa mazzi era baganywa bamira ddagala oba okuganywera ku mmere. Mu 2023, gezaako ebika by’ebyokunywa eby’enjawulo kisobozese omubiri gwo okukkakkana n’okutambuza ebiriisa obulungi ogobe endwadde.

Weemanyiize okukola dduyiro mu bulamu bwo kifuuke kitundu ku bulamu bwo.

Weemanyiize okukola dduyiro mu bulamu bwo kifuuke kitundu ku bulamu bwo.

Oyinza okukamula omubisi gw’obutunda, mangada, enniimu n’otabulamu ebibala eby’enjawulo okusinziira ku buwoomi bw’oyagala.

Emmere embisi. Weemanyiize okulya emmere embisi omuli emboga, ovakedo, obutungulu, cukamba, ennyaanya, ebibala, beetroot n’endala ey’enjawulo. Emmere eno obutakutama mangu, oyinza okugitabulamu ebibala mu langi ez’enjawulo n’okubitonaatona okusobola okusikiriza amaaso. JJukira nti buli ekirabika obulungi mu maaso, kisikiriza okulya. Ekirala oyinza okubitegekera ku mucomo gw’ennyama, enkoko, embuzi n’ebika by’ennyama ebirala ebyokeddwa okuggwaamu amasavu.

9 Essaawa. Bw’oba oyagala okwemanyiiza ebyokulya ebizimba omubiri, olina okukuuma obudde. Buli kimu okiriira mu budde obutuufu okuziyiza embeera esoomooza obulamu bwo.

10 Beerako ekika ky’emmere ekipya ky’ogatta ku kijjulo kyo. Oyinza okufunayo ekibala oba enva endiirwa by’obadde tolya naddala ebikaawa, ebinywanywagira, ebitung’ununa, esonsomola, ebibaalaala n’ebirala. Mu mmere eno mulimu: enkooge, ensugga, ejjobyo, kaamulali, katunguluccumu, obutungulu, ensaali n’endala nnyingi.