Omuwala akola mu bbaala asangiddwa ng’atemuddwa mu bukambwe

POLIISI y'e Matugga etandise okunoonyereza ku muwala abadde akola mu bbaala e Matugga gy'asangiddwaamu ng' attiddwa, omulambo gwe ne gusuulibwa mu luwonko e Kiryowa okumpi ne kkampuni ya bisquit ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.

Patrick Onyango ng'ayogera.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Omuwala #akola #bbaala #attiddwa

Bya Wasswa b. Ssentongo

POLIISI y'e Matugga etandise okunoonyereza ku muwala abadde akola mu bbaala e Matugga gy'asangiddwaamu ng' attiddwa, omulambo gwe ne gusuulibwa mu luwonko e Kiryowa okumpi ne kkampuni ya bisquit ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.

Letish Natukunda 23 ng' abadde akola mu bbaala eyitibwa Happy Girls e Matugga nga ono kigambibwa nti yasiibudde banne akawungeezi k’eggulo nga abagambye nti agenze waka kwebaka kyokka ate kibeewunyisizza okumusanga nga yattiddwa.

Kigambiwa nti Natukunda mu kugenda yalese essimu ye n'agamba banne nga bw'agenda okukomawo enkeera naye okufa kwe waliwo omutuuze abadde azze mu bbaala okunywa omwenge ye yabagambye nti  omuwala attiddwa .

Wano omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyango yagambye nti nga poliisi bwe bakizudde ng'omuwala ono yattiddwa kuba ensingo ye ebadde enyoleddwa ate nga neriiso erimu livaamu omusaayi  kiraga nti wabadde ensitaano eyamaanyi.

Omulambo guggyiddwawo ne gutwalibwa mu ggwanika lye ddwaaliro e Mulago, abasawo bagende mu maaso n’okunoonyereza .

Onyango alabudde abaana aboobuwala naddala abakola mu baala okwegenderezza abantu be batambula nabo naddala obudde obw'ekiro kuba abamu babeera balina ebigendererwa ebyabwe.